Ekibiina ekiddukanya omupiira mu Uganda ekya FUFA kikakasizza nti ttiimu ya Uganda Cranes egenda kuzannyamu omupiira ogw’omukwano ne Zanzibar, gwa kujaguza emyaka 100 ng’ekibiina ekiddukanya omupiira e Zanzibar ekya Zanzibar Football Federation kiweereza.
Zanzibar Football Federation yatandikibwawo mu 1926, nga FUFA egisingako emyaka 2 gyokka, yatandikibwawo mu 1924.
Omupiira guno gugenda kuzannyibwa nga 11 June,2026 mu kisaawe ekipya ekya Amaani Stadium e Zanzibar.
Amaani Stadium kimu ku bisaawe ebigenda okukozesebwa mu mpaka za Africa Cup of Nations ez’omwaka ogujja 2027.
Omutendesi wa Uganda Cranes Paul Joseph Put akakasizza ttiimu y’abazannyi 22 okwetegekera omupiira guno, nga abazannyi bonna bazannyira wano ewaka bayitiddwa ku ttiimu, okuggyako Kenneth Ssemakula atalina club mu kiseera kino.
Villa Jogo Ssalongo yeemu club esiinze okuvaamu abazannyi okuli David Owori, David Lukwago, Simon Ssemayange, Frank Ssebuufu ne Hassan Mubiru.
Abalala ye Ivan Ahimbisibwe owa KCCA, Abubaker Walusimbi owa Vipers, Abdul Karim Watambala owa Vipers, Joel Sserunjogi owa KCCA, Sammy Ssebadduka owa KCCA nabalala.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe












