Ttabamiruka wa Balungamya b’emikolo ow’omwaka 2023 akomekerezeddwa n’omulanga gyebali okussa essira mu kuwandiika ebyafaayo kiyambe abaliddawo okumanya ebikwata ku Buganda nga bitegekeddwa bulungi.
Minister w’ebyobulambuzi, Obuwangwa Ennono, Amasiro Embiri, Olulimi Oluganda n’ebyokwerinda Owek Dr. Antonny Wamala bw’abadde aggalawo Ttabamiruka ono ku mbuga enkulu eya Buganda mu Bulange Mengo agambye nti nga Buganda balina enteekateeka y’okufulumya ekitabo “Ssematabo” omukungaanyiriziddwa ebyafaayo by’ebika byonna ekinaayamba abantu okubimanya nga babisanga mu kitabo kimu.
Owek Wamala agamba nti ebiwandiiko ebikwata ku bintu eby’enjawulo nga bikungaanyiziddwa byakuyamba okwongera okunyweza empagi y’ebika mu Buganda.
Mu ngeri yeemu Owek Wamala asabye abalungamya b’emikolo nga bakola emirimu gyabwe bafube okubangula abantu ba Kabaka ku buwangwa n’ennono zaabwe , babibaagazise okwewala ensobi ezikolebwa bannanyini mikolo.
Ssentebe w’abalungamya mu Buganda Ismael Kajja, agamba nti omwaka guno abalungamya nga batambulira ku nnambika eyabaweebwa ba jjaja abataka abakulu b’ebika mu Buganda, bingi bitereezeddwa mu ntambuza y’emikolo egy’okwanjula n’okwanjulwa.
Akulira ba kitunzi ba Majestic Brands, Kakande Moses ku lwa ssenkulu w’ekitongole ekyo Remmy Kisaakye yeebazizza abalungamya olw’okukulemberamu omulimu gw’okubeera ba kitunzi abakulu ab’ebintu ebikolebwa e Mengo naddala eby’e mikolo.
Abasabye okwongera obwakalaabaalaba ku nsonga y’ebbaluwa n’ebirala eby’e Mengo okwewala ababicupula.
Abalungamya okuva mu masaza gonna nga bakulembeddwamu ba ssentebe babwe basomye alipoota y’ebituukiddwako omwaka mulamba.
Mu ttabamiruka ono era basazeewo nti Endaga Mwogezi eyongezebweko ebbanga ekolenga emyaka ebiri eri aboogezi bonna abazza obuggya ebiwandiiko byabwe.
Ssaabawandiisi w’abalungamya, Omuzira mu bazira Kayemba Kayiran Muhamad asomye alipoota y’olukiiko olukulembeze mwayanjulidde ebituukiddwako nebyebakoze.
Mulimu okukiika embuga mu luwalo, okwetaba mu misinde gy’amazaalibwa ga Kabaka, okuyamba banaabwe mu ngeri ez’enjawulo abafuna essanyu n’ennaku n’ensonga endala.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K