Bannabyabufuzi ku ludda oluwabula government basimbidde ekkuuli enteekateeka z’ennongoosereza mu etteeka ly’okuyiikuula eby’obugagga eby’omuttaka eriruubirira okuwa minister w’ebyobugagga eby’endibo obuyinza obw’enkomeredde ku byo, n’abalombe.
Akulira oludda oluvuganya government Matthias Mpuuga Nsamba bweyabadde mu bitundu by’e Kigezi ne Ankole yategeezezza nti ssinga bakkiriza etteeka lino neyisibwa nga government bweyagala abantu bangi ababadde bayimiriddewo olw’omulimu guno baba batuuse okubulwa eky’okukola.
Mu lukungaana luno omwabadde n’omulabirizi w’ekigezi Bishop Callisto Rubaramira olwabadde e Nakyooga , abalombe abasoba mu 2500, baalaze okutya ku tteeka lino eribaagaza bonna okufuna license nti bangi kino kibanga ekigenderera okubagoba mu mulimu ogubabeezaawo.