Ebitongole eby’enjawulo biguze emijoozi gy’emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka gya bukadde makumi abiri (20m).
Ebitongole bino kuliko KCCA, UMEME, CIPLA QUALITY CHEMICALS, INSURANCE REGULATORY AUTHORITY , Bassentebe okuva mu gavumenti y’awakati , n’ababaka ba palamenti abava mu Buganda.
Katikkiro Charles Peter Mayiga y’agibakwasizza mu bimuli bya Bulange e Mengo.
Katikkiro akuutidde abantu ba Ssaabasajja okwetaba mu nteekateeka eno, okutaasa abakyala nnawookeera wa ssiriimu.
Owek Charles Peter Mayiga, agambye nti sikituufu bantu kwekwasa sitaani nti y’abakema okufuna n’okutambuza ssiriimu wabula basaanye okwegendereza entambula zaabwe.
Loodi mmeeya Ssaalongo Erias Lukwago akulembedde ekibinja ekivudde mu KCCA, agambye nti bajja kuwagiranga enteekateeka z’Obwakabaka zonna.
Emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka egy’omwaka guno gyakubaawo ku Sunday nga 28 Museenene kyokka nga ku mulundi guno, abantu sibakukungaana nga bwegubeera bulijjo olw’okutangira ssenyiga corona nga baakuddukira eyo mu bitundu byabwe.
Omulamwa gw’omwaka guno gugamba, Abaami tulwanyise mukenenya nga tutaasa abaana ab’obuwala.