Embeera yantiisa ku kyaalo Masanda mu kyengera town Council abatuuze bagudde ku mirambo gy’abantu 4 nga bafiiridde mu nnyumba.
Abasangidwa nga bafu kuliko taata n’abaana be 3, bonna basangdidwa mu kazigo kebabadde bapangisa nga bafu.
Abatuuze okugwa ku mirambo gino bamaze kulaba nga baliraanwa babwe bano okuva ku makya tebaggulawo muzigo, ate nga taata bamumanyi nti mugoba wa Bodaboda era ng’abaddenga akeera kugenda kukola.
Abatuuze basazeewo okukuba eddirisa neryeggula amaaso bagakubye ku mirambo.
Abatuuze bakubidde police okuva e Kyengera wamu n’abakulembeze b’ekitundu abazze nebaggyayo emirambo negitwalibwa mu ggwanika ly’eddwaliro e Mulago gyekebegyebwe okuzuula ekyabasse.
Meeya wa Kyengera Town Council Mathius Walukagga ategeezezza nti abatuuze bateebereza nti taata yandibanga yawadde abaana kanywe okawulire, naye n’akanywa bonna nebafa.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif










