Abantu 10 bebaakakwatibwa nga bateeberezebwa okutwalira amateeka mu ngalo nebakuba Gongodyo nebamutta.
Akatambi ka Camera kalaga abantu nga bakuba Gongodyo, era waliwo akalaga omusajja Mugwiisa Obed ng’ayambadde T shirt ya kyenvu ng’akutte ekiggo ekinene akikuba Sydney ku mutwe.
Police emukutte neezuula n’ekiggo ekyo era kigenda kukola nga obujjulizi.
Mugwiisa Obed akwatiddwa ne Owino Joseph omukumi wa kampuni yobwananyini nga kigambibwa nti naye yenyigira mu kutwalira amateeka mu ngalo.
Abalala abakwatiddwa kuliko Ssebagala Noordin, Ayebazibwe Roden,Namukose Juliet,Mondoni Elly Twinomujuni, Herbert Katsigazi, Perigrino Tayebwa Darlious ne Tugume Hannington.
Taaata wa Sydney annyonyodde nti waliwo camera y’okukkubo eyakutte ebimu ku byabaddewo nga Gongodyo Sydney tanattibwa, ebyamulagiddwa police.
Camera eraga omikazi ayimiridde ku kkubo nga waliwo aba bodaboda abaabadde bagezaako okunyakula akasawo, mu kiseera kye kimu ne Sydney yabadde ayolekera Oluguudo ng’adda ku ludda olwabaddeko omukazi gwebaabadde babbako akasawo.
Omukazi bweyakubye enduulu abadduukirize baggukidde ku Sydney nebatandika okukuba awatali kusooka kuwuliriza kibaddewo.
Omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Racheal Kawala agamba nti fayiro zabakwate zikolebwako era bwezinaaba ziwedde bakuvunanibwa mu mbuga za mateeka.#