Kkooti ya Uganda ensukulumu esazeewo nti kimenya mateeka kooti z’amagye okuwozesa abantu babulijjo, neragira nti emisango gyonna egivunaanibwa abantu babulijjo mu kkooti y’amagye giyimirizibwe mu bwangu .
Abamulizi 7 aba kooti ensukkulumu, abakulembeddwaamu Ssabalamuzi Chagamoy Alphonse Owinyi Dollo,Elizebeth Musoke, Catherine Bamugemeirwe, Persy Night Tuhaise ne Michael Chibita bebalamudde.
Ensala eno yesigamiziddwa mu kujulira okwakolebwa Ssaabawolereza wa government kweyakola mu kkooti ensukulumu oluvanyuma lwa kkooti etaputa ssemateeka, okusalawo nti abantu babulijjo okuvunaanira abantu babulijjo kimenya ssemateeka w’eggwanga.
Ssabalamuzi w’eggwanga Alphonse Owinyi Dolo nga yakuliddemu balamuzi banne okuwa ensala eno, ategeezezza bannamateeka ababadde bakubyeko mu kkooti nti ensala eyawandiikiddwa ya miko 200, era okugisoma yonna eyinza okutwala esaawa 16 nnamba.
ENSALA Y’ABAMU KU BALAMUZI KINNOOMU NGA BWETAAMBUDDE
Omulamuzi Monica Mugenyi:
yasoose okusoma ensala ye, wabula abadde yakatandika emizondaalo negivaako, awo kooti neyimirira okumala eddakiika 10.
Oluvannyuma agenze mu maaso n’asoma ensala ye, era akinogaanyizza nti kkooti y’amagye teyetengeredde era enkola yaayo ey’emirimu ekontana ne ssemateeka w’eggwanga.
Aluηamizza nti Court Martial terina bwetengereze mu kuwozesa emisango.
Ensala y’omulamuzi Catherine Bamugemereirwe;
Omulamuzi Catherine Bamugemereirwe naye mu nsala ye agambye nti abalamuzi ba kooti y’amagye balina kubeera bannamateeka, ate basookenga kukubwamu tooki ab’akakiiko ka Judicial Service Commission of Uganda.
Alagidde nti emisango gyonna egiwozesebwa abantu ba bulijjo mu kooti y’amagye gigyibweyo bunnambiro, gitwalibwe mu kooti za bulijjo.
Asaze nti etteeka erirungamya emirimu gya UPDF likolebwemu ennoongosereza, ensonga y’ebyamateeka eddemu erambikibwe.
Omulamuzi Bamugemereirwe agambye nti n’abasirikale abakola ebikolobero ku bantu ba bulijjo, nabo basaanye kuvunaanibwa mu kooti za bulijjo.
Ensala y’Omulamuzi Elizabeth Musoke;
Omulamuzi Musoke.agambye nti abatuula mu General Court Martial tebalina bukugu bwetaagisa mu kuwozesa n’okuwa obwenkanya eri abantu abawozesebwayo.
Kooti y’amagye erina kukwasisa mpisa zokka eri abasirikale ba UPDF.
Wabula singa wabeerawo omusango ogusukka kukukwasisa empisa, erina kugusindika mu wofiisi ya Ssaabawaabi w’emisango gya government, abalina okugwongerayo mu kooti endala.
Omulamuzi Musoke agobye okujulira kwa Ssaabawolereza wa Government, era namulagira okuliyirira Micheal Kabaziguruka ensimbi zaasaasanyirizza mu musango.