Essomero lya St Mary’s Kitende be bannantameggwa b’empaka ez’a masomero ga Senior ez’omupiira ogw’ebigere mu district ye Wakiso, bwe bakubye Kyadondo SS goolo 2-1 mu kisaawe kya Kabaka Kyabaggu e Wakiso.
Mungeri yeemu Buddo SS ekutte ekifo kyakusatu bwekubye Aiden College Ndejje goolo 1-0.
Kakaano amasomero 6 gegenda okukiikirira district ye Wakiso mu mpaka eza Uganda yonna eza National Schools Football Championship 2026, ng’empaka zino zijja kubeera ku ssomero lya Lira Town College.
Wakiso egenda kukiikirirwa St Mary’s Kitende, Kyadondo SS, Buddo SS, Aiden College Ndejje, Madinah Islamic Nsangi ne Greenlight Islamic SS.
Empaka za National Schools Championship 2026 zigenda kuzannyibwa okuva nga 10 okutuuka nga 20 May,2026.
Buddo SS be bannantameggwa b’empaka ezasembayo ezaali ku Ngora High School, era yakuba St Mary’s Kitende goolo 6-5 eza peneti oluvanyuma lw’okulemagana 0-0.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe













