Omuvubuka Henry Suubi Kiyimba owe Kamengo eyasasanira ku mitimbagano emyaka ena egiyise olwokuyingira ku Makerere University ng’asitudde keesi y’ebbaati, yebazizza kitaawe olw’okulonda omukazi omukozi era omugezi eyabazaala ne banne abalala 7, era afubye okubawerera.
Ssuubi yabadde mu maka ga nnyina e Kammengo Mpigi, ku kabaga ak’okumuyozaayoza okuwangula ddiguli eya BSc in Mechanicla Engineering.
Mu maka gannyina Rosemary Nalwanga kwabadde kusagambiza kwennyini, ng’aboluganda nemikwano bakungaanye okukwebaza omutonzi okubayisa mu kaseera akokusoomozebwa.
Ssuubi 3 ku baana 8 omuli abalenzi abasatu n’abawala bataano.
Nyabwe agamba nti ekyamuzaaza abaana abawereko yali anoonya abaana balenzi abasukka mwomu.
Nalwanga agamba nti obuvumu mutabaniwe bweyakozesa okugenda ku University ne keesi y’ebbaati etaliimu bikozesebwa saako ekiveera ekyakazibwako ekya wusoofiya, omwo mukama mweyayisa omukisa okutaali buyinike ogwamukyusa obulamu bwe naabomukaage gabwe gonna awatali gugulirira kwonna.
Ssuubi yeyanzizza buli atadde etofaali ku bulamu bwabwe n’okusingira ddala kitaawe eyalonda omukyala Nalwanga akoze buli kika kyamulimu n’okwewola kumpi mu buli banka basobole okusoma, wadde nga tebaasobola kufuna buyambi bwa taata.
Bazadde ba Ssuubi bombi basomesa.
Mwannyina gwaddako naye musomesa, so ng’era Ssuubi naye government yali emuwadde sikaala okusoma obusomesa, naye oluvunyuma lwokulabikira ku mawulire enfunda eziwera ng’anyonyola nti yali ayagala kusoma bwa engineer, omuzirakisa yeyama okumuweerera asome obwa Engineer bweyali ayagala era naye teyamuswazizza.#
Bisakiddwa: Tamale William