Ssentebe wa district ye Nakaseke Ignatious Koomu awalirizza abasomesa ba primary 40 okuva mu masomero 15 agaakola obubi ennyo ebibuuzo bya PLE ebya 2023 mu district eyo, okukola ebigezo bya mock abayizi byebakola omwaka oguwedde 2023.
Kigendereddwamu okuzuulira ddala obuzibu webwava obwaviirako abayizi okukola obubi mu bigezo byabwe ebyakamalirizo.
Abasomesa bano ebibuuzo babikoledde ku Nakaseke Technical Institute e Butalangu.
District ye Nakaseke yatuuza abayizi ba P.7 abawera 4,712, nga ku bano abawala baali 2,559, abalenzi 2,153.
Abayizi 604 baayitira mu ddala erisooka, 2,683 nebayitira mu ddaala eryokubiri, 708 lyakusatu, 339 lyakuna, 245 baagwa ate 133 abaali bewandiisa okukola ebibuuzo tebaalabikako.
Koomu agamba nti Nakaseke erina abasomesa abatendeke obulungi naye wabaddewo ebibuuzo bingi ku muwendo gw’abaana abagwa ebigeezo bya PLE naddala amasomo ga sayansi ogweyongera.
Koomu agamba nti siwakukoma wano era nti esaawa yonna bakuddamu bakole n’ebibuuzo bya PLE abayizi byebaatuula omwaka oguwedde 2023.
Koomu agamba nti wadde district esazewo okukozesa abasomesa bano ebigezo, buno buvunanyizibwa bw’abakulu ba masomero n’obukiiko obuddukanya essomero okukasa nti abaana bafuna ekyo kyebagwanidde okufuna akaseera kebamala ku ssomero.
Abasomesa abatudde ebigezo bino bavudde mu masomero okuli Kikamulo R/c Primary School, Butiikwa Project P/S, Magoma Arthodox P/S,
Mulungi Omu P/S
Bisakiddwa: Conslata Ttaaka