Ssentebbe wekibiina kya Nrm era omukulembeze weggwanga Yoweri Kaguta Museveni ayise olukiiko lwekibiina kino olwokuntikko olwa Central Executive Committee okusinsinkana olwaleero mu maka gobwa President Entebbe okubaako ensonga zebogerako naddala ezikwaata ku kwemulugunya kwabannakibiina kino abataamatira nebyaava mu kamyuufu kekibiina kino.
Okusinziira ku bbaluwa mwaami Museveni kwayitidde ensisinkano eno, ensisinkano eno yakutandiika ku saawa 7 ezettuntu lyaleero.
Olukiiko lwa Cec mu nsisinkano eyasembayo , lwaatondawo akakiiko kabannamateeka okutunula mu kwemulugunya kwabannakibiina kino ku mutendera egyegyawulo okuli aba gavument ezebitundu nebifo byobubaka bwa palament okwaava mu kamyuufu kekibiina kino kino, era akakiiko kano ennaku zino zonna kabadde kekeneenya okwemulugunya kuno.
Werutuukidde olwaleero, waliwo bannakibiina bangi obuwanguzi bwaabwe obukakasiddwa akakiiko kano songa waliwo nabalala ng’obuwanguzi bwaabwe busaziddwaamu akakiiko kano nebuweebwa abalala
Emanuel Dombo director webyamawulire ku kitebbe kyekibiina kino agambye nti olukiiko lwa Cec , ssabawandiisi wekibiina kino agenda kulwanjulira alipoota ku ngeri akakiiko kabannamateeka bano gyekakutemu ensonga zokwemulugunya kuno newekatuuse
Kulwomukaaga lwa sabiiti eno, ekibiina kino era kyaakuteekateeka akamyuufu kekibiina ku bifo ebyenjawulo okuli ebyabaliko obulemu, abakozi, abakadde nabavubuka okufuna abanaakwatira ekibiina kino bendera mu kulonda kweggwanga lyonna.
Emanuel Dombo agamba nti era olukiiko lwa CEC lwakutegezebwa ku nteekateeka zokulonda kuno nekibiina bwekyeeteeseteese okuwandiisa bannakibiina kino eri akakiiko kebyokulonda sabiiti ejja,