Senkulu wa radio ya CBS omukungu Michael Kawooya Mwebe arangiridde nti nga bakolera wamu ne bana cbs fans club okwetoloola ebitundu ebyenjawulo bakunnyikiza enkola y’okusimba emiti ng’omu ku kawefube w’okutaasa obutonde bw’ensi n’okutuukiriza ekiragiro kya Ssabasajja Kabaka.
Omukungu Kawooya Mwebe agamba nti balina ebika byémiti egyénkizo ebiri gyebagenda okusaako essira okukuuma obutonde bwénsi, sso nga gikolwamu nébintu ebirala ebikulakulanya abantu.
Bino omukungu Kawooya abyogedde alambula ekibira ku Mbuga ye Gombolola mu myuka Nakifuma mu ssaza lye Kyaggwe ekyasimbibwa ba memba ba Cbs fans club abe Nakifuma.
Mungeri yemu omukungu y bazizza ow’egombolola eyo, Namugambe Angellah Musoke olw’okukuuma ekibira ekyo, n’amusuubiza okwongera okukolera awamu ne CBS okukigaziya.
Omwami we Gombolola mumyuka Nakifuma Namugambe Angellah Musoke agambye nti bagala okufuula ekibira ekyo ekyobulambuzi.
Ssalongo Walusiimbi Lule memba wa Nakifuma fans club yávunaanyizibwa kukulabirira ekibira ekyo.
Ekibira kino, kyasimbibwa ng’ekijjukizo ku matikkira ga Ssabasajja Kabaka agemyaka 25 Jubireewo.
Bw’avudde mu Kyaggwe n’alambula banna Cbs fans club abali mu ssaza Bugerere, nebamwanjulira ebimu ku Birungi byebafunye bukya begatta ku cbs radio.
Cbs fans club ebakumyekumye okubeera obumu saako enkola ya cbs Pewosa ebayambye okwekulakulanya .
Ssentebe Ssonko Moses agambye nti balina obukadde bwa shs 40 mu kibiina kyabwe, sso nga basobodde n’okugula ettaka kwebateekateeka okussa project ezenjawulo.
Omwami wa Kabaka ow’essaza Bugerere Mugerere James Ssempigga asabye abantu okunyweza olulimi oluganda,n’okwongera okuwuliriza cbs radio bongere okugaziwa mu byenkulakulana, olwa program zaayo ezizimba.
Bisakiddwa: Lubega Mudashiru