Ssaabasumba w’essaza ekkulu ery’e Kampala Kitaffe Paul Ssemoogerere atongozza enteekateeka z’okujaguza emyaka 100 egya Eklezia Lutikko y’e Lubaga kasookedde etukuzibwa.
Emikolo gy’okujaguza emyaka 100 egya lutikko gyakubaawo nga 26 October, 2025.
Eklezia w’e Lubaga yeetaaga ensimbi obuwumbi bubiri n’obukadde bibiri mu kyenda n’omusobyo (shs 2.29b), okuyooyoota ekifo n’okutegeka omukolo omulungi.
Ssaabasumba Ssemoogerere mu ngeri yeemu atongozza n’obukiiko bw’okukola emirimu egyenjawulo egy’ekijaguzo ogwoleka omutindo gw’emyaka ekikumi.
Ssaabasumba asabye abantu ba Katonda bonna abawangaalira mu Kampala nebwebataba bazaale baamu, okudduukirira omulimu guno kubanga Lutikko ye Lubaga yaabwe wadde baliko masaza gyabaava.
Eng. Pius Mugalaasi Mugerwa ye ssentebe w’olukiiko omugwa obukiiko obulala bwonna ng’amyukibwa Munnamawulire Michael Mukasa Ssebbowa, ba mmemba ye Omuk. John Fred Kiyimba Freeman akulira akakiiko ak’okunoonya ensimbi, Vicar General Msgr. Rogers Kabuye Mukasa, Beatrice Kayizzi Lugalambi, Fr. Jjajja Richard Nnyombi, n’abalala.
Eng. Puis Mulagaasi ku lwabanne yeeyamye nti wadde obudde balina butono, baakukola omulimu gwonna nga bwebaagutegese ekifo kitemagane ,ekitiibwa ky’emyaka 100 kiveeyo bulungi.
Omukungu John Fred Kiyimba Freeman akulira akakiiko k’okunoonya ensimbi, agambye nti omulimu guno baagugguliddewo account mu Centenary Bank abazirakisa kwebayinza okussa ensimbi olw’omulimu gw’okuyooyoota n’okuddaabiriza lutikko ku myaka e 100.
Lubaga Cathedral 100 YEARS A/C NO: 3100117179 Centenary Bank.
Ssaabasumba n’olukiiko era batemye evvuunike mu kifo awagenda okuzimbibwa awasimbibwa emmotoka ezisoba mu 60 awo okumpi n‘eddwaliro lye Lubaga
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K