Omusigire wa Ppaapa omuwumuze Ssaabasumba Dr. Augustine Kasujja, ku lwa Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala Paul Ssemogerere, atongozza ekibiina kya Bannamawulire Abakatoliki abakolera mu mikutu egiri mu ssaza ekkulu erya Kampala, ekya Kampala Archdiocese Journalists’ Association-KAJA n’omulanga okukola omulimu gwabwe nga bagwesigamya ku mazima n’obulambulukufu.
Ssaabasumba Kasujja abadde akulembeddemu ekitambiro kya Mmisa eky’okukuza olunaku Lw’amawulire N’ebyempuliziganya mu Eklezia Katulika olw’ensi yonna, omukolo gubadde ku Eklezia ya Our Lady of Counsel ku kigo kye Gayaza.
Ssaabasumba Kasujja nga yeesigama ku mulamwa Omutukuvu Ppaapa Francis gweyaweereza okukwata ku nsonga y’amagezi amaliikirize (Artificial Intelligence) agambye nti bannamawulire bateekeddwa okuba abasaale mu kukozesa obutendeke bwabwe nga bakola okusalawo okutuufu era okusaanye okuteesigamiziddwa ku byuma (kalimagezi).
Agambye nti ebyuma bino bikolebwa bantu kale nga tebisobola kufuna busobozi kulowooza yadde okubaamu “omutima” ogw’obuntu mu kusalawo ensonga entuufu!
Bannamawulire Abakatoliki abaweerereza mu Ssaza ekkulu erya Kampala beekolamu omulimu gw’okutondawo ekibiina ekibataba n’ekigendererwa eky’okusaasaanya amawulire ga Eklezia mu ngeri y’obukugu n’okuyamba Abakristu n’abantu abalala okugafuna mu butuufu bwago.
Oluvannyuma lw’okutongoza ekibiina kino, Ssaabasumba Kasujja alayizza olukiiko olukulembeze olw’ekiseera nga lukulemberwa munnamawulire wa CBS Ssaalongo Charles Kawuma Masembe nga President, omumyuka ye Ponsiano Nsimbi owa Bukedde, Omuwanika ye Kamulegeya Achileo Kiwanuka owa CBS, Ow’amawulire ye Ssebulime Gideon Peter owa Radio Sapientia, Ow’ekikula ky’abantu Zaalwango Margret owa Bukedde n’abalala.
Akulira ekitongole ky’amawulire n’ebyempuliziganya mu ssaza ekkulu erya Kampala Rev Fr. Joseph Mukiibi asabye abaamawulire mu Parish ez’enjawulo okukolagana obulungi ne bannamawulire abatendeke okutuusa obubaka ku bantu mu ngeri entuufu.
Ssentebe wa district y’e Wakiso era munnamwulire Matia Lwanga Bwanika abadde omwogezi ow’enjawulo ku nsonga ya Artificial Intelligence akuutidde Bannamawulire n’abaamawulire obutakkiriza kufeebezebwa byuma okutuuka n’okubanafuya mu kulowooza n’okuyiiya.
Bwanika agambye nti buli muntu alina essimu ey’omulembe yafuuka “munnamawulire”, nti bingi ebiyisibwako abantu byebasobola okukkiriza wadde nga tebisunsuddwa bakugu.
Agambye nti newankubadde tetukyayinza kudda mabega, kyetaagisa nnyo okussaawo ennambika ku nkozesa y’emikutu naddala egya Social Media kubanga ssinga kino tekibaawo, ensi esuliridde okugwa mu katyabaga.
Ssaabasumba mu Kitambiro kya missa ayambiddwako Abasaasredooti bangi ddala, nga kyetabyemu bannaddiini abalala, bannabyabufuzi n’abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo.
Bannamawulire n’abaamawulire okuva mu ssaza ekkulu bangi omukolo guno ogw’omulundi ogwa 58 bagwetabyeko.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo Kiwanuka