Olukiiko lw’abatakka abakulu ab’obusolya lwakutuula essaawa yonna nga lukubirizibwa Ssabatakka Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, okufulumya entekateeka ey’okuziika omutaka w’ekika ky’ENdiga Lwomwa Daniel Bossa eyakubiddwa amasasi.
Ssabataka wamu n’abakulu b’obusolya mu kiseera kino okusinziira ku nnono bebalina okufulumya enteekateeka zonna ezigenda okugobererwa mu kuziika omutaka, wakati nga Obuganda bulindiridde ne alipoota okuva mu police ekwata ku butemu obwakoleddwa ku mutakka w’akasolya.
Okusinziira ku katikkiro w’ekika kya Ndiga Lwasi Eria Buzaabo balindiridde okusalawo okuva ewa Ssabasajja Kabaka ku nteekateeka zonna ezigenda okugobererwa mu kuziika omutaka.
Agumizza Obuganda ne bazukulu ba Lwomwa nti babeere bakkakamu nti kubanga ensonga eno erina emitendera egiriina okugobererwa.
Mu kiseera kino abakungubazi bakyeyiwa mu maka g’omugenzi agasangibwa ku kyalo Kikandwa mu Lungujja mu gombolola ye Lubaga mu Kampala, agali okumpi n’ekifo abazigu webamukubidde amasasi bweyabadde ava mu ssaza Kyaggwe, gyeyasisinkanidde bazzukulube ab’omutiba gwa Ssekoba Busanga Kkome.
Bisakiddwa: Sharif Lukenge