Kikakasiddwa nti okusaala Idd El Fitil kugenda kubeerawo ku lw’okusatu nga 10 April,2024.
Abasiibi bagenda kujjuza ennaku 30 nga basiiba omwezi guno omutukuvu ogwa Ramadhan.
Sheikh Yasir Kulumba akulira ebyeddini mu Office ya Supreme Mufuti ku muzikiti e Kibuli, yakoze okulangirira kuno mu lukungaana lwa bamawulire e Kibuli.#