Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye abaami be mu ssaza Buvuma ku mutendera gw’Owessaza, abaami b’Amagombolola n’Abalimisa bawebwe entambula nebasobozesa okukakkalabya emirimugye.
Eno yeemu ku nteekateeka ekoleddwa mu kwetegekera okujjukira n’okujaguza amatikkirage ag’omulundi ogwa 30 nga ali ku Namulondo.
Amaato asatu gatongozeddwa era negakwasibwa abaami ba Kabaka okubadde ow’Essaza Buvuma Mbuubi Michael Mboowa, n’amagombolola Mumyuuka Bugaya ne Ssaabawaali Bwema.
Omulimisa w’Essaza naye akwasiddwa piki piki kapyata.
Bwabadde ayogerako eri abantu ba Kabaka mu ssaza Buvuma ,omubadde n’Okusimbula empaka z’Amaato, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abaami ba Beene baleme kutuula mu yafeesi, naye batuuke mu bantu bebakulembererako Kabaka babalungamye.
Katikkiro asabye abasajja ku bizinga obutakoowa kwekuuma kirwadde kya Mukenenya, mungeri yeemu naasaba abavubuka abawala okutunula enkaliriza baleme kusiigibwa Mukenenya.
Ssentebe wa District ye Buvuma Adrian Ddungu, yebazizza Obwakabaka olwokutuusa obuweereza obulungi mu bantu , kyokka nebasaba nabo bayambibweko n’Amaato gano, mu buweereza bwebatuusa ku bantu.
Bisakiddwa: Kato Denis