Ssaabasajja Kabaka Empologoma ya Buganda Ronald Muwenda Mutebi II ayozaayozezza n’okuweereza obubaka eri King Charles III, olw’okutikkirwa ng’omukulembeze w’ennono owa Bungereza.
Ssaabasajja Kabaka ayagala amatikkira gano; okuyigiriza banna Uganda obukulu bw’ennono era n’okuyita mu buwangwa bwabwe okuzimba Uganda eyeyagaza buli muntu.
Obubaka buno busomeddwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ku bikujjuko by’amatikkira ga King Charles III, ebibadde mu maka g’omubaka wa Bungereza mu Uganda Kate Airey mu Kampala.
King Charles lll mu ngeri yeemu aweerezza obubaka obusiima abo bonna ababayozaayozezza mu bukulembeze bwebatandise nga busomeddwa omukungu mu maka g’omubaka wa Bungereza Arnold Kabbale.
Omubaka wa Bungereza mu Uganda Kate Airey agambye nti obukulembeze bwa King Charles III bwa kusoosowaza okukuuma obutonde bwensi obugenze busaanyizibwawo mu nsi yonna, okuyambako abavubuka okufuna obukugu n’okwekkirizaamu basobole okwekulaakulanya kwossa n’ensonga z’ennono awamu n’obuwangwa obwenjawulo okutumbuka.
King Charles III ku myakya 73 yatikkiddwa nga King wa Bungereza 40.
Wabadde wayise emyaka 70 okuva nnyina Queen Elizabeth II atikkirwa mu kkanisa ya Westminster Abbey mu kibuga London mu 1953.
Bisakiddwa: Kaleebu Henry