Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II akulisizza abasiibi n’abebaza okusabira eggwanga okubaamu emirembe n’obwenkanya.
Nnyininsi agambye nti ensi yonna yandibadde mukujaganya n’okwenyumiriza mukusaasira kwa Katonda okwaleetebwa Yesu Kristo, nti naye abantu bangi basoomozebwa olw’emisolo egiteekeddwa ku buli kintu ate nga giri waggulu.
Sseggwanga ayogedde ku bbula ly’emirimu, obuseere bw’ebintu ebikozesebwa mu bulamu bwa bulijjo,okusoberwa olw’obutemu n’obubbi obuyitiridde.
Omuteregga Ccuucu asabye omutonzi nti ku mazuukira g’omwaka guno, gazuukize emitima gy’abakulembeze naddala abakiise ba parliament okutuukiriza byabaasuubiza abalonzi n’okunogera eddagala ebizibu ebyolekedde eggwanga, nga biva ku musolo, ebbeyi y’ebintu,ebbula ly’emirimu, embeera embi ey’amalwaliro,n’ebyokwerinda mu ggwanga lyonna.
Empologoma ya Buganda eyagalizza abantu be amazuukira ag’essanyu n’emirembe.