Omumyuka Asooka owa Katikkiro wa Buganda Owek. Prof. Twaha Kigongo Kaawaase n’ekibinja e kyava e mbuga okwolekera e Kano mu Nigeria, okwetaba mu bikujjuko bya “Kano Durbar”, basisinkanye Emir w’e Kano, His Highness Alhajj Aminu Ado Bayero.
Emir ba musisinkanye mu Lubiri lwe e Kano ne bamukwasa obubaka bwa Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II obubadde obw’ekyama.
Oweek. Kaawaase, annyonnyodde Emir ku ngeri Obwakabaka gye bweyambisa ettuttumu lya Kabaka, okukola emikago egiwagira enteekateeka z’Obwakabaka eziyamba abantu, n’amutonera n’ekirabo ekya Quran.
Betabye ne ku mikolo emikulu egy’okuvugira embalaasi mu bibinja by’amasaza, nagyo gikoleddwa mu Lubiri lwa Emir.
Buli kibinja kikulemberwamu Omulangira, so nga n’Emir naye agyetabyemu butereevu, n’avuga embalaasi.
Emir asisinkanye abagenyi be n’ayogerako nabo, omu ku omu, n’oluvannyuma n’abagabula ekijjulo.
“Kano Durbar Cultural and Religious Festival”
Eno nteekateeka etambulizibwa ku mulamwa ogw’obuwangwa n’eddiini, okujaguza entikko y’omwezi ogwa Ramadhan ogw’okukuza Eid Elfitr, ate n’okukuza Eid Al-Adha ey’okusala ebisolo, mu kitundu ekyo
Emikolo gino gyetoololera ku Emir we Kano ng’etandika n’okusaba, ate oluvannyuma ne batambulira ku luseregende lw’embalaasi, okwolekera Olubiri lwa Emir.
Entikko y’emikolo gye gigwera ng’abantu bakungaanye okwoleka obuwulize eri Emir.#