• Latest
  • Trending
  • All
Ssaabasajja Kabaka asiimye Owek.Balikuddembe Ssenkusu afuuke ssenkulu wa Buganda Royal Institute omuggya

Ssaabasajja Kabaka asiimye Owek.Balikuddembe Ssenkusu afuuke ssenkulu wa Buganda Royal Institute omuggya

October 2, 2023
Eyali omubaka Mubaraka Munyagwa atongozza Common Man’s party – akakiiko k’ebyokulonda tekanakiwandiisa

Eyali omubaka Mubaraka Munyagwa atongozza Common Man’s party – akakiiko k’ebyokulonda tekanakiwandiisa

July 15, 2025

DP ewezezza abantu 68 abagala okuvuganya ku bifo by’ababaka ba parliament – abakulira eby’okulonda mu DP bagamba omuwendo gukyali mutono

July 15, 2025
Vipers FC yeddiza omuwuwuttanyi Abdul Karim Watambala – Simba eya Tanzania ebadde emwegwanyiza

Vipers FC yeddiza omuwuwuttanyi Abdul Karim Watambala – Simba eya Tanzania ebadde emwegwanyiza

July 15, 2025
Katikkiro Mayiga agguddewo ekizimbe MEERU Building e Masaka – kizimbiddwa  Buddu CBS PEWOSA Sacco

Katikkiro Mayiga agguddewo ekizimbe MEERU Building e Masaka – kizimbiddwa Buddu CBS PEWOSA Sacco

July 15, 2025
Enteekateeka z’okuziika Omulamuzi Prof.George W. Kanyeihamba zaakulindamu

Enteekateeka z’okuziika Omulamuzi Prof.George W. Kanyeihamba zaakulindamu

July 15, 2025
Government ya Uganda efulumizza trillion 17 okuddukanya emirimu gyayo mu kitundu ekisooka  eky’omwaka gw’ensimbi 2025/2026

Government ya Uganda efulumizza trillion 17 okuddukanya emirimu gyayo mu kitundu ekisooka eky’omwaka gw’ensimbi 2025/2026

July 15, 2025
Gomba eronze Simon Gita ng’omutendesi wa ttiimu y’essaza ow’ekiseera – oluvannyuma lwa Simon Ddungu okusuulawo omulimu

Gomba eronze Simon Gita ng’omutendesi wa ttiimu y’essaza ow’ekiseera – oluvannyuma lwa Simon Ddungu okusuulawo omulimu

July 15, 2025
President Museveni agguddewo mu butongole akatale k’e Busega – abaganyuddwa mu nkola ya PDM mu Kampala aboongedde ensimbi

President Museveni agguddewo mu butongole akatale k’e Busega – abaganyuddwa mu nkola ya PDM mu Kampala aboongedde ensimbi

July 14, 2025
President Museveni agguddewo mu butongole akatale k’e Busega – abaganyuddwa mu nkola ya PDM mu Kampala aboongedde ensimbi

NIRA etandise okufulumya endagamuntu z’abantu ezaali zaggwako – emitwalo 10 zezaakafuluma

July 14, 2025
Omulamuzi Prof.George Wilson Kanyeihamba afudde:1939 – 2025

Omulamuzi Prof.George Wilson Kanyeihamba afudde:1939 – 2025

July 15, 2025
Police ekubye omukka ogubalagala mu bawagizi ba NRM e Namutumba – pikipiki z’abawagizi zookeddwa

Police ekubye omukka ogubalagala mu bawagizi ba NRM e Namutumba – pikipiki z’abawagizi zookeddwa

July 13, 2025
Gomba eyongedde okuvumbeera – Busujju ejikubye 2-1 mu mupiira gw’empaka z’amasaza 2025

Gomba eyongedde okuvumbeera – Busujju ejikubye 2-1 mu mupiira gw’empaka z’amasaza 2025

July 13, 2025
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home BUGANDA

Ssaabasajja Kabaka asiimye Owek.Balikuddembe Ssenkusu afuuke ssenkulu wa Buganda Royal Institute omuggya

by Namubiru Juliet
October 2, 2023
in BUGANDA
0 0
0
Ssaabasajja Kabaka asiimye Owek.Balikuddembe Ssenkusu afuuke ssenkulu wa Buganda Royal Institute omuggya
0
SHARES
236
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, asiimye Owek. Joseph Balikuddembe Ssenkusu abeere Ssenkulu w’ettendekero lya Buganda ery’ebyemikono erya Buganda Royal Institute of Business and Technical Education e Kakeeka Mengo.

Azze mu bigere bya Owek Dr. Anthony Wamala amaze emyaka 15 nga ye ssenkulu waalyo, wabula nga kati yasiima n’amukwasa okubeera minister bw’eby’obulambuzi,eby’obuwangwa,entambula za Kabaka n’ebyokwerinda.

Owek. Dr. Wamala mu butongole awaddeyo office eri Owek Balikuddembe era n’atuuzibwa minister w’ebyenjigiriza mu Buganda Owek. Cotilda Nakate ku mukolo ogubadde ku ttendekero wennyini e Kakeeka Mengo.

Owek. Balikuddembe Ssenkusu yeeyanzizza  Ssaabasajja okumulondobayo n’asiima amuweereze nga ssenkulu, n’asuubiza okukola n’amaanyi okutwala mu maaso Owek Wamala byakutteko.

Owek. Ssenkusu asuubizza okulwana n’amaanyi ge gonna okununula ettaka ly’ettendekero eryewangamizibwako bannakigwanyizi ng’ayita mu mateeka.

Owek. Nakate asabye ssenkulu omuggya, okuyambako okukwasizaako amatendekero ga Ssaabasajja ag’ebyemikono amalala , n’anokolayo Kasawo Technical Institute mu ssaza Kyaggwe nalyo lisituke lituukane n’omutindo.

Amusuubizza obuyambi bwonna bwanaaba yeetaaga okuva mu ministry naddala ku nsonga ezeetaaga eddoboozi n’omukono gwe nga minister.

Owek. Dr. Anthony Wamala, asabye Owek. Ssenkusu okutambulira ku mulamwa gw’obumu mu bayizi abazadde, abasomesa n’abaweereza ku mitendera gyonna lwanasobola okukola omulimu obulungi.

Ssaabasajja Kabaka yasiima n’atandikawo ettendekero ly’ebyemikono okubangula abantu be mu magezi ag’ensibo mu 2008,  lyatandika n’abayizi 700 wabula kati woosomera bino nga lirina abayizi abasoba mu 5080.

Omukolo gw’okutuuza ssenkulu omuggya gwetabyeko ba mmemba b’olukiiko olufuzi olw’ettendekero lino nga bakulembeddwamu ssentebe waalwo, Omuk. Dr. Kasozi Mulindwa.

Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo Kiwanuka.

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Eyali omubaka Mubaraka Munyagwa atongozza Common Man’s party – akakiiko k’ebyokulonda tekanakiwandiisa
  • DP ewezezza abantu 68 abagala okuvuganya ku bifo by’ababaka ba parliament – abakulira eby’okulonda mu DP bagamba omuwendo gukyali mutono
  • Vipers FC yeddiza omuwuwuttanyi Abdul Karim Watambala – Simba eya Tanzania ebadde emwegwanyiza
  • Katikkiro Mayiga agguddewo ekizimbe MEERU Building e Masaka – kizimbiddwa Buddu CBS PEWOSA Sacco
  • Enteekateeka z’okuziika Omulamuzi Prof.George W. Kanyeihamba zaakulindamu

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist