Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye okuggalawo empaka zÉmipiira gyÉbika byÁbagabda 2023 ku kisaawe kya Muteesa II war memorial stadium e Wankulukuku.
Zino z’empaka ez’omulundi ogwa 49, nga bazzukulu ba Kayiira abeddira Embogo ne bazzukulu ba Kisoro abeddira e Ngonge bebazannya omupiira ogw’akamalirizo mu mupiira ogw’ebigere.
Omupiira ogw’okubaka guli wakati w’abazzukulu ba Kasujja abeddira Engeye ne bazzukulu ba Mbaziira ab’Enyonyi Enyange.
Wagenda kubaawo okulwaanira ekifo kyokusatu mu mpaka zÓkubaka wakati wÉkika kye Mamba Namakaka nÉnkima mu kubaka, olwo mu gw’ebigere Omutima omusaji gwambalagane n’Enseenene.
Omukubiriza wÓlukiiko lwÁbataka Omutaka Namwaama Augustine Kizito Mutumba asabye abazzukulu mu bika byonna okugenda ku kisaawe e Wankulukuku okubugiriza Ssaabasajja, nÓkulaga omukwaano ebika byabwe.
Minister wÁbavubuka eby’emizannyo n’ebitone Owek Robert Sserwanga Ssalongo, asabye abazzukulu bonna abagenda okuweetaba mu mpaka zino okuzannya nébigendererwa, nÓkulowooza ku biseera byaabwe ebyomumaaso.
Ssentebe wÓlukiiko oluteesiteesi olwempaka zÉbika by’Abaganda Owek Katambala Haji Sulaiman Magala, yebazizza ebika byonna ebyetabye mu mpaka zino, n’omutindo gwebyolesezza.
Kinajjukirwa nti ekika ky’Embogo kyekyasooka okuwangula empaka zino mu 1950, nekiddamu mu 2015 era kyasembayo okuwangula empaka zino mu 2019.
Engonge nayo guno gugenda kuba mulundi gwa kubiri okutuuka ku mpaka z’akamalirizo mu mpaka zino, okuva mu 1993 bweyali ezannya n’Enkima.
Ekika kyÉmmamba kyekikyasinze okuwangula engabo yÉbika byÁbaganda n’emirundi 10 neddirirwa Olugave olwakagitwala emirundu 7, era olugave lwawangulako Engabo eno emirundi esatu egyomuddiringanwa.#
Bisakiddwa: Kato Denis