Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye n’alambula ku njegoyego z’ennyanja Nnalubaale, mu bitundu ebye Ntebbe.
Omutanda abadde ku Resort Beach e Ntebbe, mu ggandaalo ly’amazuukira ga Yezu kristu aga 2023.
Abadigize babugaanye essanyu b’asanzeeyo, nga n’abamu ababadde mu mazzi babuseeyo bubuusi okulaba ku Nnyininsi.
Sserulanda Ekiryo Ekimaamidde Obuganda abadigize abaguddeko tebategedde, abamu eky’okukola kibabuze nebatunula butunuzi, abandi baggyeeyo essimu bakwate bu ‘selfie’ obw’ebyafaayo.
Ssekessa asiimye n’awuubira ku bantube basanze ku lubalama kw’ennyanja eno.
Abalala agenze abakwatako mu ngalo ekirese bangi nga bafa essanyu era nga bonna okusinga ababaddeyo babadde bavubuka.
Mu kiseera kino wasigaddeyo ennaku 5 zokka okutuuka ku misinde gy’amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka, agagenda okubeerawo nga 16 April,2023 mu lubiri e Mengo.
Empologoma yazaalibwa nga 13.April,1955.#