Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda II asiimye naggalawo ttabamiruka wábakyala ba Buganda 2022, nasiima abakyala okukwasaganyanga ttabamiruka wabwe okwogera ku nsonga ezibakosa.
Ttabamiruka w’abakyala ayindidde mu Lubiri e Mengo, n’omulamwa ogugamba nti “omukyala omulamu gwe musingi gw’obuyiiya n’enkulakulana”.
Beene mu bubakabwe asiimye emirimu egyenjawulo egikolebwa abakulembeze wamu nébibiina byábakyala mu Buganda.
Mungeri eyenjawulo Ccuucu asiimye Nnaabagereka olwokulafuubana okukyusa embeera zábakyala mu Buganda ne Uganda yonna okutwalira awamu.
Omuteregga era asiimye abaami abakwasizaako abakyala okukulakulana, neyeebaza n’ebibiina byabakyala mu Buganda abakoze ekisoboka okutumbula ebyenfuna byabwe.
“Tusiimye nnyo olw’okulonda emiramwa egigenderera okukyusa endowooza z’abakyala n’okwekulakulanya mu mbeera ez’enjawulo” Ssaabasajja Kabaka.
Nnyininsi Musota mu ngeri eyenjawulo asiimye naawa abakyala olubiri lwe Mengo okukolerayo emikolo gyabwe egyenjawulo nga begazaanya.
Sseggwanga atuuse mu lubiri ku ssaawa kkumi neemu zennyini ez’akawungeezi ngaali wamu ne Nnaabagereka,era ayaniriziddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga.
Bamulambuzza amakula agaleeteddwa abakyala ba Buganda, era Kaggo Agnes Ssempa yakulembeddemu okugakungaanya.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abakyala obutaggwamu maanyi mu kutumbula embeera zabwe, era naabasaba okujjumbira okutumbula eby’obulamu nga beyunira amalwaliro.
Ssaabaminister Robinah Nabbanja asabye abakyala obutenyooma olw’ekikula kyabwe, wabula benyigire mu mirimu egyenjawulo, n’obukulembeze.
Nabbanja abawadde ekyokulabirako nti ye ssaabaminister omukyala asoose mu Uganda.
Saabaminister Nabbanja annyonyodde abakyala ebikwata ku ndagaano y’emmwanyi government gyeyakola ne kampuni ya Vinci Coffee co.ltd, wabula abakyala tebibasanyusizza nebamusaba akomaawo.
Minister wébyenjigiriza , ebyobulamu era nga yavunaanyizibwa ku wofiisi ya Nnaabagereka Owek Dr Prosperus Nankindu Kavuma yebazizza Beene olwokusoosowaza abakyala n’abawa ebifo ebyobuvunaanyizibwa, era neyeeyama okukuuma obwesigwa mu buweereza, ng’ali wamu nábakulembeze abaamukwasibwa.
Omukolo Omukolo guno gwetabiddwaako abalangira nábambejja ,baminister ba Buganda naaba gavumenti eyaawakati, bajjajja abataka abÓbusolya, ababaka ba parliament , nábaami ba Beene ku mitendera gyonna nábantu ba bulijjo bangi ddala.
Bisakiddwa: Kato Denis
Ebifaananyi: Bya Musa Kirumira