Ssabasajja Kabaka Empologoma ya Buganda Ronald Muwenda Mutebi II asiimye naalabikako eri Obuganda ku mwalo gwe Nakiwogo ku nnyanja Nalubaale mu Busiro mu kibuga kye Entebbe, abantu ababadeyo nebabugaana esannyu
Nyinimu bwatuuse ku mwalo guno agulambudde okulaba gyegukolamu emirimu, era abantu abasinga bamwekanze bwekanzi ng’atandise okugulambula, buli omu naava kukyabadde akola n’agenda okwaniriza Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka.
Abantu ba Kabaka abalabye ku nnyini nsi bakubye emizira olw’okulaba ku Kabaka, nebamwebaza olw’okusiima nabalambulako ku mwalo guno n’okulaba emirimu gyebakola.
Nyinimu gyebuvuddeko yalambula emyalo emirala okuli Mulungu ne Katosi.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif