Libadde ssanyu jjereere mu Kabuga ke Mpambire mu ssaza Mawokota, Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II bwasiimye naalambula ku bantube ababeera kitundu ekyo.
Omutanda bwatuuse e Mpambire ngaava mu ssaza Kyadondo, mmotokaze ziyimiridde emabbali ge kkubo nasiima naavamu, nalamusa kubagoma be Mpambire.
Nnyinimu agenze alambula bbajjiro ku bbajjiro era amaze mu kitundu ekyo eddaakika nga 30.
Aguze engoma ez’enjawulo, era awadde abantube abasukka mu 6 ssente enkalu.
Abagoma nabo bamutonedde amakula agenjawulo omubadde engoma ez’ebika ebyenjawulo.
Omuteregga Sserwatika lwa ttaka olumaze okulambula abagoma nadda mu mmotoka neziddayo gyezivudde.
Munamawulire w’essaza Mawokota Ssalongo Ssozi Ben nga Mutuuze we Mpambire, ngeera yoomu kubaanirizza Kabaka agambye nti kyebafunye olwaleero babadde tebakirabangako.
Bisakiddwa: Patrick Sserugo