Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye Kabaka Foundation mu Sweden olw’enteekateka ezikoleddwa ezigenderera okukyusa obulamu bw’abantu be.
Obubaka bw’omutanda bwetikkiddwa Nnaalinnya lubuga Agnes Nabaloga.
Omutanda asiimye olukiiko olwawummudde olubadde lukulembera Kabaka Foundation mu Sweden olw’okusima omusingi ogw’enteekateeka ezigenderera okukyusa obulamu bw’abantu mu byobulamu, ebyenjigiriza omuli ne Kabaka Foundation Academy.