Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye n’alabikako eri Obuganda mu kusimbula emisinde gy’amazalibwage agemyaka 68 nga asinziira mu Lubiri e Mengo, naalagira wabeewo okubudaabudibwa okwenjwulo eri abalina akawuka ka Mukenenya.
Omutanda atuuse mu Lubiri ku ssaawa emu n’ekitundu, ng’ali wamu ne Nnabagereka Sylivia Nagginda, wamu n’abambejja n’abalangira.
Nyinimu bwabadde ayogerako eri Obuganda nga tannasimbula misinde mubunabyalo, yeebazizza abantube bonna abadduse emisinde okwetoloola ebitundu bya Buganda, Uganda ne munsi yonna, nagamba nti emisinde gino gya kitiibwa mu nsi yonna , era gisaanye gijjumbirwe kuba gigendereddwamu kulwanyisa Mukenenya akaabya ensi eno.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yebazizza abantu ba Kabaka bonna abeetabye mu misinde gino, era naabasaba obutakoowa kuteeka mu nkola biragiro bya Ssemunywa omuli okulwanyisa Mukenenya nga bali wamu.
Ssentebe w’Olukiiko oluteesiteesi lw’emisinde gy’amazaalibwa g’Empologoma Owek Prof. Hajji Twaha Kawaase Kigongo, bw’abadde ayaniriza omuddusi omukulu ow’emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka Omulangira David Kintu Wassajja, yeebazizza buli akoze ekisoboka emisinde gino okubeera egy’ekitiibwa, naasaba abantu ba Beene okwetegekera emisinde gy’omwaka ogujja 2024.
Minister w’abavubuka ebyemizannyo n’okwewummuza mu Bwakabaka owek Henry Moses Ssekabembe Kiberu yeebazizza abavujjirizi b’emisinde gino, era bwaatyo naasaba abavubuka okukozesa obubaka bwa Ssemunywa balwaanyise Mukenenya, nga bakola byonna ebimuziyiza.
Abantu ba Kabaka abeetabye mu misinde gino bamwebazizza byansusso okubazzangamu amaanyi nga takoowa, kyokka nebasuubiza okukolera awamu okumegga Mukenenya.
Emisinde gy’empologoma egy’omulundi guno gyetabiddwako Nnaabagereka Sylvia Nagginda, Ba Nnaalinnya, abalangira n’abambejja, ba Jjajja abataka ab’Obusolya, ba ssenkulu b’ebitongole by’Obwakabaka byonna, abaami b’amasaza n’amagombolola, ba minister b’obwakabaka n’abalala.
Emisinde gy’amazaalibwa g’Empologoma agemyaka 68 giwagiddwa Airtel Uganda, kampuni ya yinsuwa eya SWICO, I&M bank, UNAIDS, Uniliver Uganda limited, CBS, BBS Terefayina, Uganda Aids commission, n’abavujjirizi abalala.
Bisakiddwa: Kato Denis