Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II alagidde Banna Uganda okwenyigira mu nteekateeka zonna ez’okugaba omusaayi.
Ssabasajja agambye nti banna Uganda basobola bulungi okugonjola ekizibu kyébbula ly’omusaayi mu ggwanga nga buli muntu yenyugiddemu .
Obubaka buno Omutanda abutisse Omulangira Cryspin Jjunju Kiwewa bwabadde aggulawo enteekateeka y’okugaba omusaayi ey’omwaka guno 2023. etegekeddwa ekitongole ki Kabaka Foundation.
Enteekateeka eno etandikira mu Ssaza Kyadondo, okuva nga 13 okutuuka nga 20 omwezi guno ogwa January 2023.
Omukolo ogwókutongoza enteekateeka eno gubadde ku mbuga enkulu eyÓbwakabaka mu Bulange e Mengo.
Omukolo gwetabiddwako abantu abanjawulo omuli abakulembeze bénzikiriza zéddiini mu Uganda,Abaami abamasaza, Abamagombolola ,Bassenkulu bebitongole,Ababaka ba Parliament okuva mu Kyadondo,Ba mayor, abakulembeze mu Taxi ne Bodaboda , n’abalala bangi.

Omumyuka asooka owa Katikiro Prof Haji Twaha Kawaase Kigongo asabye abakulembeze abalala okukunga abantu okujjumbira okugaba omusaayi mu Kyadondo, okutaasa abantu abenjawulo, omuli abagudde ku bubenje, abaana abato, abagudde ku bubenje nébirala.
Kulwa Bakulembeze abanzikiriza zéddiini a abatebya mu musomo gw’o kukungaanya omusaayi Bishop Joshua Lwere, asuubizza nti bakwenyigira mu nteekateeka zonna ezÓbwakabaka ezigendereddwamu okusitula banna Uganda n’ebyobulamu.
Akulira ekitongole ekya Uganda Blood Transfusion Service Dr Byabazayire Kyeyune agamba nti balina essuubi nti ebbula ly’omusaayi lyakuggwawo mu ggwanga, singa ebitundu byonna birabira ku bwa Kabaka nebigaba omusaayi .
Ssentebe w’olukiiko olukulu oluddukanya ekitongole kya Uganda Red Cross Society Dr Khalidi Kirunda yeyanzizza Ssabasajja Kabaka olw’enteekateeka eno, gyágambye nti ebawadde amaanyi okwongera okutalaaga ebitundu byéggwanga ebyénjawulo.
Bisakiddwa: Kato Denis
Ebifaananyi: Musa Kirumira