Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II alagidde abakulembeze ku mitendera gyonna okussaawo obuyiiya obwenjawulo,okutuukiriza byonna ebibadde tebinakolebwa mu nteekateeka ya Buganda Namutaayiika eyémyaka etaano.
Namutaayiika ono yayisibwawo mu mwaka gwa 2018, agenda kukomekkerezebwa mwaka oguggya 2023.
Ssabasajja alagidde abakulembeze okunyweza empuliziganya wakati wabwe ne bebakulembera.
Obubaka buno Omutanda abutisse Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga mu kuggulawo olusirika lw’abakulembeze ba Buganda,lutudde ku Nile Hotel e Njeru mu ssaza Kyaggwe.
Ssabasajja agambye ebigendererwa byÓbwakabaka byonna bisaanye bissibwe mu bikolwa sso ssi bigambo bugambo.
Omutanda akinogaanyizza nti ”Teri kubuusabuusa embeera eyaleetebwa omuggalo gwa covid yakosa nnyo emirimu gyobwakabaka. Wabula tulina ssuubi emirimu gyakuddamu okutambula obulungi.
Twagala tuteeke essira kwebyo ebikolebwa sso ssi kwebyo ebyogerebwa”
Abalagidde okwewala okuyimba ennyo ebizibu n’okusomooza kwebasanga,wabula bakozese obuyiiya obusaanidde okubinogera eddagala.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga mu bubaka bwe, agambye nti enfuga eya federo ekyali ku mwanjo era Obwakabaka sibwakussa mukono n’okumusomesa abantu amakulu ga federo.Agambye nti obwagazi bwénfuga eya Federo mu Buganda ne Uganda eyaawamu butunuulidde nnyo okubbulula abantu ba Buganda ne Uganda mu byenfuna , ebyobulamu , okukuuma obutondebwensi nókumalawo ebbula lyémirimu mu bavubuka,nébirungi ebirala bingi.Katikkiro agambye nti bino byonna byakukolebwa nga mulimu n’obugumiikiriza.
Annyonyodde nti ”Abanja federo alina okwewala entondo.Abanja bwafuna entondo ayinza okubulwako byakola”.
Katikkiro agambye nti abakulembeze ne bebakulembera balina okwetunulamu okulaba oba ebikoleddwa bigasizza abantu,ate ebigaanye ebituli bizibibwe.
Omumyuuka owÓkubiri owa Katikkiro era omuwanika wÓbwakabaka Owek Robert Wagwa Nsibirwa asabye abakulembeze ku buli mutendera mu Bwakabaka okutambuza Federo eyébikolwa, nga bwebalinda eyémpapula.
Olusirika luno olutandise leero lwakukomekkerezebwa ku lwokuna nga 24.3.2022.Lutambulira ku mulamwa ogw’okunnyikiza federo ow’ebikolwa aluubirira okutumbula embeera z’abantu.Lwetabiddwaamu abakulembeze ba Buganda ku mitendera gyonna.
Mulimu abakulu b’ebika,ba minister, ababaka b’olukiiko,bakulira ebitongole,ab’amasaza,n’