
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye naazimbira abantu be abeetaaga okubeerwa mu Ssaza lye Kkooki ennyumba ez’omulembe, okusobola okukyusa embeera zabwe.
Abantu babiri bebakwasiddwa ennyumba zaabwe, Mukyala Namayanja Janat ku kyalo Kigayaza mu gombolola ye Buyamba ne Hanifah Nakafeero ow’okukyalo Nsonso.

Ennyumba zino kuteereddwako tanka z’amazzi ne kabuyonjo ez’omulembe, n’akatandaalo okuggyayo ekifaananyi ky’amaka agasaanidde era amayonjo.
Ennyumba zino zibakwasiddwa minister w’ettaka bulungibwansi n’obulimi Owek Mariam Mayanja Nkalubo.
Owek Nkalubo asabye abantu ba Ssabasajja Kabaka okukuuma obutondebwensi nga basimba emiti ,okwewala okussenda entobazi ,obutasuulasuula buccuppa n’obuveera n’ebirala.

Omukwanaganya we mirimu gy’obwakabaka mu Ssaza Kooki Owek Gertrude Nakalanzi Ssebugwawo yeyanzizza Ssabasajja Kabaka okwagala abantu be bakulembera, era neyeyama obutatiirira Namulondo .
Abantu ba Ssabasajja Kabaka abawereddwa enyumba okuva mu Ssaza Kooki mugombolola ye Buyamba okuli Nakafero Anifa ne Namayanja Janat bategezeza nti babadde basula mumbeera mbi, era beyanzizza nnyo Ssabasajja Kabaka okulowooza ku bantube.

Omutanda yaasiima okuzimbira abantu be abetaaga okuberwa ennyumba ez’omulembe mu masaza gonna, ng’enteekateeka eno yatandikira mu Ssaza Busiro mu mwaka gwa 2019.
Kwolwo Ssabasajja Kabaka yeyakwasa munna Busiro Ssentongo Abubakali ennyumba.
Amasaza amalala agakazimbiddwamu enyumba kuliko Kyagwe ,Mawokota ,Busiro ne Kooki, ng’obwakabaka buyambibwako ekitongole kya Habitat for humanity.
Ekigendererwa kyokuzimba enyumba zino Ssabasajja kabaka ayagala okutumbula embeera zabantube zebawangaliramu wamu n’okutumbula eby’obulamu.