Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yoomu ku bakabaka ba Buganda aboogerwako ng’ab’ekyewuunyo, kuba kitaawe Ssekabaka Edward Walugembe Luwangula Muteesa II, yamulangirira nti alibeera Kabaka ng’akyali mu lubuto lwa nnyina Kabejja Sarah Nalule.
Kabejja Nalule weyetikkira ettu lya Mugema, Kabaka Muteesa yali mu Bungereza mu buwanganguse gye yatwalibwa Gavana Sir Andrew Cohen nga 30 November 1953.
Okumuwangaangusa yalangibwa kusabira nsi ye Buganda okukomya endagaano ze yakola ne Bungereza, esobole okufuna obwetwaze bwayo.
Kabejja Sarah naye oluvannyuma lw’ekiseera yagenda e Bungereza okumulambulako.
Kabaka Muteesa ne mikwano gye bagendanga nnyo okuwuga ku mbalama z’ennyanja. Kyokka olunaku olumu Sarah teyabegattako ekyatuusa mikwano gye okubuuza Kabaka Muteesa ekyali kimulemesezza.
Kabaka Muteesa yabaddamu nti yali mulwadde, kyokka mu ngeri ey’okusaaga n’abagamba nti obulwadde bwalwadde ssi bubi nti “Katonda bwanaaba ayagadde mwandifuna Kabaka”
Oluvannyuma lw’okuyitawo emyezi, Kabaka yayagala Kabejja agende mu Bukiikakkono bwa Bufaransa awummulireko eyo era gyaba azaalira.
Kyokka mikwano gya Kabaka omwali Parma Ntanda ne Lameka Sebanakitta, ebigambo bye tebabitwala ng’ebyokusaaga era ne bamuwa amagezi, nti oba ettu lya Mugema lisuubirwa okuvaamu Kabaka tekyalibadde kituufu Kabejja kusumulukukira mu Bulaaya.
Bakiggumiza nti okusinziira ku mateeka g’ensi eyo, omwana abeera azaaliddwayo abalibwa nga munnansi w’ensi eyo ekintu ekitali kirungi Kabaka okubalibwa nga omuzaale w’ensi endala.
Katikkiro Charles Peter Mayiga bw’eyawadde Obuganda ng’attottola Kabaka Mutebi engeri gyeyazaalibwamu, agambye nti Kabaka Muteesa ne Sarah Nalule basalawo ogulira omwana obugoye obwali mu langi eya bbululu n’ebyetaagisa ebirala nga bateekateeka okuzaala Omulangira.
Kabejja Sarah Nalule bwatyo yakomawo eka mu Uganda gy’aba azaalira era kino kyatuukirira Omulangira Ronald Muwenda Mutebi II n’azaalibwa nga 13 April 1955 mu ddwaliro e Mulago.
Essimu yaweerezebwa mangu e London okutegeeza Kabaka Muteesa nti omwana eyali azaaliddwa Mulangira era nti alabika bulungi.
Oluvannyuma lw’okufuna essimu eno, Kabaka Muteesa yalagira wategekebwewo akabaga akaali mu Eaton Place okwali Nalinnya Ndagire n’abagenyi abalala bangi era ku akabaga kano kwe yalangirira nti Kabaka yali azaaliddwa.
Ssekabaka Muteesa 11 byeyawandiika mu kitabo kye “Descretion of My Kingdom” agamba nti Kabejja Sarah Nalule, ng’amaze okusumulukuka, olw’okuba Muteesa yali akyali mu buwanganguse e Bungereza, amannya agaatuumibwa omulangira , erya Mutebi ne Muwenda yaweereza maweereze, era teyafuna Mukisa kumulabako, okumalira ddala emyezi musanvu, okutuusa ng’akommyewo ku butaka nga October 17, 1955.
Kabaka Muteesa abaana b’amasomero baagendanga mu lubiri okumusannyusaamu nga bayimba ennyimba, era mu masomero ago mwe mwali ne Kabuubwe Primary School omuva mu ssaza lye Kigangazzi, abayimba ennyimba ne zimukwata omubabiro.
Yalagira Ow’essaza Simon Kiruluuta agende alambule essomero eryo era anoonye n’ekifo Omulangira Mutebi mwe yali ayinza okusula nga asoma. Owesaza yasalawo asulenga ewa Ssalongo Kaweesi eyali Owomuluka gw’e Kabuubwe ate nga ye ssentebe wa PTA y’essomero.
Mutebi ng’atwaliddwa mu ssomero eryo,, omukulu waalyo Edward Ssenyonga yalagirwa obutayisa Mulangira ng’omwana owenjawulo era nalagirwa ayambalenga nga baana banne era yasomeranga mu bigere byereere nga temuli ngatto.
Mu 1959 nga Kabaka Mutebi ng’awezezza emyaka etaano egyobukulu, Kitaawe Ssekabaka Muteesa ll yamutwaala mu ssomero eryo Kabuubwe Primary School mu Ssaza ly’e Bugangazzi. Essomero lino kati lyakusibwa erinnya liyitibwa Luwangula Primary school, oluvanyuma lwa Kabaka Mutebi okulikyalira.
Kabaka Mutebi bweyali mu Ssomero lino, yasulanga mu maka g’owomuluka Ssaalongo Kaweesi, agaali gesudde mailo ng’emu okutuuka ku Ssomero, era wano yatambuzangawo ebigere ngawerekerwako omusirikale eyava e Mengo eyayitibwanga Kibuuka.
Mu 1960 Kabaka Mutebi yaggibwa e Bugangazzi nakomezebwawo e Mengo, oluvannyuma lwa Ssekabaka Muteesa ll okumufunira omusomesa omuzungu, Mark Amory, eyatandika okumusomesa e Lubowa ku Luguudo lwe Ntebe, ate ebiseera ebimu ng’asomera Budo Junior.
Mu 1962 Ssekabaka Muteesa yasalawo atwale Kabaka Mutebi mu kiseera eky’o eyali omulangira, e Bulaaya gy’aba asomera.
Bweyatuuka eyo yasomera mu ssomero lya England Preparatory School, n’oluvannyuma natwalibwa mu Kings Mead school e Sussex, nga yemuduggavu yekka eyalirimu.#