Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye okuggulawo empaka z’emipiira gy’ebika 2023, ku Saturday nga 13 May.
Empaka zino zakuggulwawo ekika ky’Enkima n’Engabi.m mu kisaawe e Wankulukuku.
Okuyingira mu kisaawe okulaba omupiira kwa shs omutwalo 10,000/= ne 20,000=.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga atongozezza empaka zino, ku mukolo ogubadde mu Bulange e Mengo n’akunga abantu okujjumbira okugenda okuwagira ebika byabwe.
Abavujjirizi kuliko aba Airtel Uganda, CBS FM, Uganda Aids Commission, BBS Telefayina n’abalala.
Omukubiriza wólukiiko lw’Abataka omutaka Augustine Kizito mutumba akuutidde abazzukulu okukwasizaako ba Jajjaabwe mu kuteekateeka za tiimu z’ebika.
Ssentebe wólukiiko oluteesiteesi lwe Mpaka zébika Katambala Haji Sulaiman Magala yebazizza abantu bonna olw’okwongera omuwagira emipiira n’emizannyo emirala gyonna.
Empaka z’ebika mulimu omupiira ogw’ebigere ogw’abasajja, n’ogw’abakazi ogw’okubaka ogukulirwa Sarah Nkonge.
Bisakiddwa: Kibuuka Fred