Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye emirimu amatendo egikoleddwa Douglas Nelson Ssenyonjo eyavudde mu bulamu bwensi eno, ng’abadde muweereza mu Kitongole ekye Nkuluze.
Omutanda obubaka buno abutisse Nalinnya Agness Nabaloga mubm kusaba okwokwebaza omutonzi olw’obulamu bw’omugenzi Nelson Douglas Ssenyonjo , okubadde mu lutikko e Namirembe.
Kabaka asaasidde ab’enju y’omugenzi, abaana ne Namwandu olwokuviibwako mukwano gwabwe.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, mu bubakabwe obusomeddwa omumyukawe owókubiri era omuwanika wóbwakabaka owek Robert Waggwa Nsibirwa, asomoozezza abawereza nabakozi bulijjo okukola emirimu n’obwesimbu.
General Katumba Wamala, nga ye minisita ow’ebyenguudo mu ggwanga amwogeddeko nga abadde omukozi ebitagambika era neyebaza Kabaka olwobujanjabi bwawaddeyo eri omuwerezaawe.
Akulembeddemu okusinza abadde Canon Fred Matovu, asabye abakkiriza obutakoowa kukola bulungi eri banaabwe.
Omuwanika we nkuluze John Kitenda ayogedde ku mugenzi nga abadde omuwereza ateeganya, era nga yakolannyo mukulungamya enkola yémirimu mu kitongole ekyenkuluze.
Kitaawe w’omugenzi Zziwa Moses yebazizza Ssabasajja olw’omuwendo gwawaddeyo okujanjaba omuwerezaawe.
Namwandu Dorothy Ssenyonjo yebaziza bonna ababereddewo mu kiseera kino ekyokusomoozebwa.
Douglous Nelson Ssenyonjo agenda kuziikibwa mu Kitengeesa Masaka.
Bisakiddwa: Kibuuka Fred