• Latest
  • Trending
  • All
Ssaabalamuzi Alfonse Owiny Dollo akiise embuga neyetondera Ssaabasajja Kabaka

Ssaabalamuzi Alfonse Owiny Dollo akiise embuga neyetondera Ssaabasajja Kabaka

March 31, 2022
She corporates esitukidde mu kikopo kya liigi yababinywera eya Fufa women super league

She corporates esitukidde mu kikopo kya liigi yababinywera eya Fufa women super league

May 20, 2022
Police etandise okuyigga abanyaguludde bus ya kampuni ya Link ku mudumu gw’emmundu

Police etandise okuyigga abanyaguludde bus ya kampuni ya Link ku mudumu gw’emmundu

May 20, 2022
Obwakabaka bwa Buganda bukungubagidde eyali omukulembeze wa United Arab Emirates Sheik Khalifa Bin Zayed

Obwakabaka bwa Buganda bukungubagidde eyali omukulembeze wa United Arab Emirates Sheik Khalifa Bin Zayed

May 20, 2022
She Cranes yetegekera Commonwealth games – abazannyi 30 bebayitiddwa

She Cranes yetegekera Commonwealth games – abazannyi 30 bebayitiddwa

May 20, 2022
Police esuulidde Dr.Besigye emisanvu emuganye okwekalakaasa olw’ebbeeyi y’ebintu  – asiibye yesibidde mu mmotoka

Police esuulidde Dr.Besigye emisanvu emuganye okwekalakaasa olw’ebbeeyi y’ebintu – asiibye yesibidde mu mmotoka

May 19, 2022
Obululu bw’ekikopo ky’empaka z’amasaza ga Buganda bukwatiddwa – amasaza gagabanyiziddwa mu bibinja bisatu

Obululu bw’ekikopo ky’empaka z’amasaza ga Buganda bukwatiddwa – amasaza gagabanyiziddwa mu bibinja bisatu

May 20, 2022
Government esabye embalirira y’ennyongereza ya buwumbi shs 617 – ababaka bayombye tekubaganyiIddwako birowoozo

Government esabye embalirira y’ennyongereza ya buwumbi shs 617 – ababaka bayombye tekubaganyiIddwako birowoozo

May 19, 2022
Alemereddwa okusasula ez’omwenge asindikiddwa Luzira

Alemereddwa okusasula ez’omwenge asindikiddwa Luzira

May 19, 2022
Abantu musanvu bakwatiddwa lwakuwogganya bidongo mu budde bwekiro

Abantu musanvu bakwatiddwa lwakuwogganya bidongo mu budde bwekiro

May 19, 2022
Ssaabasajja Kabaka asiimye naggalawo ttabamiruka w’abakyala ba Buganda 2022

Ssaabasajja asiimye okuggulawo empaka z’omupiira gw’ebika by’abaganda 2022- olukiiko oluggya oluziddukanya lulangiriddwa

May 19, 2022
Parliament eragidde government esazeemu endagaano y’emmwanyi gyeyakola ne kampuni ya Vinci – ensimbi eziwe abasuubuzi bannansi bongere omutindo ku mmwanyi

Parliament eragidde government esazeemu endagaano y’emmwanyi gyeyakola ne kampuni ya Vinci – ensimbi eziwe abasuubuzi bannansi bongere omutindo ku mmwanyi

May 19, 2022
BUL FC yesozze fayinolo za Uganda Cup – ewera kwesasuliza ku Vipers FC

BUL FC yesozze fayinolo za Uganda Cup – ewera kwesasuliza ku Vipers FC

May 18, 2022
  • ABOUT US
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CONTACTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • Stromme Foundation
  • Login
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • Politics
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Departments
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • Events
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home BUGANDA

Ssaabalamuzi Alfonse Owiny Dollo akiise embuga neyetondera Ssaabasajja Kabaka

by Namubiru Juliet
March 31, 2022
in BUGANDA, Features, News
0 0
0
Ssaabalamuzi Alfonse Owiny Dollo akiise embuga neyetondera Ssaabasajja Kabaka
0
SHARES
99
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter
Katikkiro Charles Peter Mayiga ng’ayaniriza Ssaabalamuzi Alfonse Owiny Dollo nga yakatuuka mu Bulange e Mengo

Ssaabalamuzi wa Uganda Alfonse Owiny Dollo akiise embuga ku Bulange e Mengo, okwetondera Ssaabasajja Kabaka, olwébigambo bye yayogera ebivvoola Nnamulondo.

Ssabalamuzi atuuse ku Bulange e Mengo ku ssaawa 4 nékitundu, ng’awerekeddwako eyaliko president wa UPC ambassador Olala Otunu, Ralph Ochan, Peter Okwera n’abalala.

Ensisinkano eno yetabiddwamu bannaddiini okuva mu kibiina ekitaba enzikiriza ekya Inter Religious Council of Uganda abakulembeddwamu ssentebe wabwe Dr. Samuel Kazimba Mugalu, omusumba wa Kiyinda Mityana Dr. Joseph Anthony Zziwa ate era nga ye Ssentebe wabepisikoopi, omusumba Joshua Lwere, ssaabalabirizi wabadivent eyawummula Pastor Dr. John Kakembo Ssensalire n’abalala.

Ssaabalamuzi ayaniriziddwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga nómumyukawe Owek Dr. Twaha Kawaase Kigongo, omukubiriza wólukiiko lwa Buganda Patrick Luwaga Mugumbule ne minister wémirimu gyénkizo Owek. Daudi Mpanga.

Omusumba Dr Joseph Anthony Zziwa yasomye essaala egguddewo ensisinkano eno.

Wabaddewo obufubo bwa mirundi ebiri n’ensisinkano ya mulundi gumu, eno yekkiriziddwamu bannamawulire.

Mu nsisinkano eno Katikkiro Mayiga ajulizza enjogera egamba nti  “omukwano guva mu ngabo”, nti bwatyo  Ssaabalamuzi okukola ensobi n’agikkiriza era najja neyetonda, kikolwa kya bugunjufu,kyabuntu, era tekirina wekiragira bunafu alaze nti musajja muvumu.

“Njagala okwebaza Ssaabalamuzi okubeera omwetowaze, kubanga obolyawo ffe twandibadde tugenda gyali olw’ekifo kyalimu, ng’abadde asobola n’okwogera nti mujje twogeremu,naye bwaba yasazeewo okwetowaza najja kikolwa kirungi kya bugunjufu ddala. Ssaabalamuzi nkwebaza olw’obuvumu obwo.  ’’.

Katikkiro agambye nti abantu bangi bulijjo bakola ensobi mu bikolwa ne mu bigambo,  naye abasinga tebatera kuvaayo kwetonda.

‘‘Ekikolwa kya Ssaabalamuzi kibeera kyakuyiga eri abantu bonna naddala abakulembeze”

Ssaabalamuzi Owiny Ddolo mu kwetonda kwe, yebazizza Obwakabaka okumukkiriza okujja okwetonda, era n’ategeeza nti musanyufu nti azze mu mirembe era addayo gyavudde mu mirembe.

Agambye nti alina okukkiriza nti buli nsonga zisobola okugonjoolwa mu bukakkamu, era ensisinkano ya leero nti ebadde n’amakulu mangi. (kino akizzeemu emirundi ebiri)

Ebigambo ebisitudde Ssaabalamuzi Alfonse Owiny Dollo yabyogerera mu maka g’omugenzi Jacob Oulanyah e Muyenga, nga 22 march,2022 mu kiro,wakati mu bakungubazi abaali bakuƞaanidde mu maka omwo.

Dollo yali ayogera ku bannauganda abeekalakaasa mu America nga bawakanya ekyókusaasaanya ensimbi zómuwi wómusolo okupangisa ennyonyi okutwala Jacob Oulanyah okujjanjabwa mu malwaliro geeyo.

Abekalakaasi baali bakutte ebipande ebisaba government okutereeza eby’obujanjabi mu Uganda, okussa eddagala mu mwaliro, okusitula omutindo gw’amalwaliro, abakungu ba government babeere nga tebaddusibwa mu malwaliro g’ebweru.

Mu kwogera kwa Ssaabalamuzi Dollo yayongerako nti “omukulembeze wammwe owénnono (gwataaayatula mannya) bweyatwalibwa e Germany mu nnyonyi yóbwa president, nebamusaasaanyizaako ensimbi zómuwi wómusolo nga temwekalakaasa”,  Neyebuuza nti abekalakaasa ku lwa Jacob Oulanyah bakikola lwakuba mucholi!

(Weyayogerera bino, waali wakayita emyezi mitono nga Ssaabasajja Kabaka agenzeeko e Germany okujanjabibwa).

Ebigambo bya Ssaabalamuzi byaviirako abantu abamu okusikuuka emmeeme, nga bagamba nti byandibadde tebyogerebwa mu kiseera kino ekyókukungubagira eyali sipiika wa parliament Jacob Oulanyah, nti era bisiga obukyayi nókusosola mu mawanga, songa Jacob Oulanyah abadde mugatta bantu.

Era Oluvannyuma Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga bweyali awa obubaka bw’okukungubagira Jacob Oulanyah, yategeeza eggwanga nti ennyonyi Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II gyeyatambuliramu mu August wa 2021, ngágenda e Germany okufuna obujjanjabi yali ya kampuni ya KLM, sso ssi ya president nga Ssaabalamuzi bweyayogera.

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • She corporates esitukidde mu kikopo kya liigi yababinywera eya Fufa women super league
  • Police etandise okuyigga abanyaguludde bus ya kampuni ya Link ku mudumu gw’emmundu
  • Obwakabaka bwa Buganda bukungubagidde eyali omukulembeze wa United Arab Emirates Sheik Khalifa Bin Zayed
  • She Cranes yetegekera Commonwealth games – abazannyi 30 bebayitiddwa
  • Police esuulidde Dr.Besigye emisanvu emuganye okwekalakaasa olw’ebbeeyi y’ebintu – asiibye yesibidde mu mmotoka

Recent Comments

No comments to show.

News sectioning

Plugin Install : Widget Tab Post needs JNews - View Counter to be installed
  • Trending
  • Comments
  • Latest
ABASIBE BAFIIRIDDE MU KABENJE, BABADDE BAGENDA MUNNIMIRO

ABASIBE BAFIIRIDDE MU KABENJE, BABADDE BAGENDA MUNNIMIRO

February 17, 2022
Abayizi abatanaweza myaka 18 sibakuddamu kuwandiisibwa mu matendekero gébyekisawo

Abayizi abatanaweza myaka 18 sibakuddamu kuwandiisibwa mu matendekero gébyekisawo

April 26, 2022
Omwoleso gwa CBS Pewosa aboolesezza n’abalambuzi baganyuddwa

Omwoleso gwa CBS Pewosa aboolesezza n’abalambuzi baganyuddwa

April 18, 2022
Supreme Court return Crane Bank to Sudhir

Supreme Court return Crane Bank to Sudhir

February 11, 2022
Obwakabaka bwa Buganda butangaazizza ku nnyonyi eyatwala Ssaabasajja Kabaka e Germany

Obwakabaka bwa Buganda butangaazizza ku nnyonyi eyatwala Ssaabasajja Kabaka e Germany

March 28, 2022

The co-founder of Quality Chemicals dies.

0

Uganda, TOTAL Agree on Pipeline Project.

0

South Sudan reopens schools after 6-month lockdown.

0

President Yoweri Museveni is in Tanzania to sign an implementation agreement for the East Africa Crude Oil Pipeline (EACOP) project.

0

NUP Coordinator Accuses Police Of Torture

0
She corporates esitukidde mu kikopo kya liigi yababinywera eya Fufa women super league

She corporates esitukidde mu kikopo kya liigi yababinywera eya Fufa women super league

May 20, 2022
Police etandise okuyigga abanyaguludde bus ya kampuni ya Link ku mudumu gw’emmundu

Police etandise okuyigga abanyaguludde bus ya kampuni ya Link ku mudumu gw’emmundu

May 20, 2022
Obwakabaka bwa Buganda bukungubagidde eyali omukulembeze wa United Arab Emirates Sheik Khalifa Bin Zayed

Obwakabaka bwa Buganda bukungubagidde eyali omukulembeze wa United Arab Emirates Sheik Khalifa Bin Zayed

May 20, 2022
She Cranes yetegekera Commonwealth games – abazannyi 30 bebayitiddwa

She Cranes yetegekera Commonwealth games – abazannyi 30 bebayitiddwa

May 20, 2022
Police esuulidde Dr.Besigye emisanvu emuganye okwekalakaasa olw’ebbeeyi y’ebintu  – asiibye yesibidde mu mmotoka

Police esuulidde Dr.Besigye emisanvu emuganye okwekalakaasa olw’ebbeeyi y’ebintu – asiibye yesibidde mu mmotoka

May 19, 2022
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CONTACTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CONTACTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist