Filimu eraga olugendo lwa president w’ekibiina ky’ebyobufuzi ekya National Unity Platform Robert Kyagulanyi ssentamu mu lugendo lwe olw’ebyobufuzi, eridde engule y’omwaka mu firimu ezimanyiddwanga the best documentary of the year.
Firimu eno erondeddwa ekitongole ki International Documentary Association Documentary Award mu lutuula lw’ekibiina kino olw’omulundi ogwa 39.
Firimu eno ettottola obulamu bwa Robert Kyagulanyi Ssentamu ,olugendo lwe mu byobufuzi n’okusoomozebwa kwonna kweyayiitamu mu kunoonya akalulu komwaka 2021 omuli nebikolwa ebityoboola eddembe ly’obuntu ebyamutuusibwako abebyokwerinda.
Mulimu m abawagizi be okufiira mu kunoonya akalulu, abaakwatibwa naabo abatuusibwako obuvune obw’olubeerera omwali nabantu abasoba mu 50 abattibwa mu kwekalakaasa kwa November w’omwaka 2020 mu Kampala.
Firimu eno era attotola okuguguba Robert Kyagulanyi Ssentamu nebanne kwebasaawo mu mwaka gwa 2017, parliament bweyali eggyawo ekkomo ku myaka gya president okuva ku myaka 75 okweyongerayo.
Mu kiseera ekyo, amaggye gaalumba parliament, ababaka abawerako nebakubwa era bangi bakyapookya n’ebisago, abalala baasibwa.
Firimu eno ebbanga eriyise, ebadde etongozebwa mu mawanga agenjawulo.#