Omukulembeze wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu asabye Banna Mubende obutava ku mulamwa wadde nga batiisibwatiisibwa.
Kyagulanyi Ssentamu bino abyogeredde Nsengwe mu gombolola ya mutuba 1 Kitenga mu district ye Mubende,bw’abadde asisinkanye family ya Kisembo agambibwa okuba nti yawambibwa omwaka mulamba oguyise.
Kyagulanyi Ssentamu ategeezezza nti Banna Mubende basanye okukwatirako abo bonna abawambibwako Abantu babwe.
Mukyala wa kisembo yebazizza obuyambi obumuwereddwa Kyagulanyi.#