Amaka g’obwa president gakakasizza okulondebwa kw’abalamuzi abawerako okuli amyuka Ssaabalamuzi w’eggwanga n’abalamuzi ba kkooti enkulu.
Amaka g’obwa president mu mbeera eno, gafulumizza olukalala lw’abalamuzi abalonde, nga kino kisanguddewo ekiwandiiko ekibadde kifulumiziddwa akakiiko k’eggwanga akavunanyizibwa ku kulondoola essiga eddamuzi ka Judicial Service Commisson , akabadde kasambaze ebyokulondebwa kw’abalamuzi bano.
Amawulire g’okulondebwa kw’abalamuzi bano gaafulumye mu kiro kya Thursday nga 6 February,2025, wabula akakiiko ka Judicial Service commisson nekabyegaana nti tekabimanyiiko, okutuusa amaka gobwa president bwegafulumizza ekiwandiiko ekiraga olukalala lw’abalamuzi abaalondeddwa omukulembeze w’eggwanga.
Abalamuzi abaakakasiddwa amaka g’obwa president nti balondeddwa kuliko akulira kkooti enkulu Flavian Zeija kati nga yalondeddwa nga omumyuka wa Ssaabalamuzi w’eggwanga okudda mu bigere bya Richard Buteera agenda okuwummula.
Omulamuzi Muzamil Kibeedi asuumusiddwa okuva mu kkooti ejjulirwamu natwalibwa mu kkooti ensukkulumu.
Abalamuzi 8 basuumusiddwa okuva mu kkooti enkulu okugenda mu kkooti ejjulirwamu nga bano kuliko Omulamuzi Musa Ssekaana, Sabiiti Cornelia Kakooza, Stella Alibateesa, Florence Nakacwa n’omulamuzi Byaruhanga Jesse Rugyema.
Abalamuzi abalala abatwaliddwa mu kkooti ejjulirwamu kuliko Musisi John Mike , Ketra Katariisibwa Katunguka, nomulamuzi Ester Nambayo.
President Museveni era alonze abalamuzi ba kkooti enkulu ab’ekiseera kuliko Sarah Langa Siu abadde akulira abawandiisi ba kkooti zonna mu ggwanga, yoomu ku balondeddwa nga omulamuzi mu kkooti enkulu.
Abalala kuliko Rosemary Bareebe Ngabirano, Mary Babirye, Liliam Alum Omara, Charles Kasibayo, Mary Kaitesi Kisakye, Susan Odongo, Karooli Ssemogerere, Joanita Gertrude Bushara ne Simon Peter Kinobe Mutegeki nga ono yaliko President w’ekibiina ekitaba bannamateeka mu ggwanga.
Abalala ye Vincent Opyene, Sarah Birungi Kalibbala, Isaac Teko Bony, Fatuma,Nanziri Bwanika , Flavia Grace Lamuno, Ida Nakiganda n’abalala.
Amaka gobwa president mu kiwandiiko ekikakasa okulondebwa kwabalamuzi bano, gagambye nti ebikwata ku bantu abalondeddwa bisindiikiddwa eri parliament okubakubamu ttooki.#