President wa Ugansa Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa alagidde Ssaabapolice Abas Byakagaba mu bwangu ddala asazeemu akakalu ka police akaawebwa abantu abagambibwa enguzi abantu abaafuna ensimbi za Parish Development Model mu bendobendo lye Lango.
President agambye nti ng’ennaku z’omwezi 25 January,2025 omugenzi Brig General Charles Oluka eyali ssenkulu w’ekitongole Kya ISO yakola alipoota k eyayoleka nti abakulu mu Lango baasaba ekyoogya mumiro okuva mu bantu abaafuna ensimbi za Parish Development Model, wabula ate police bweyakwata abantu abo ate yamala nebayimbula ku kakalu kaayo.
Omugenzi Brig Charles Oluka eyali ssenkulu w’ekitingole kya ISO yafudde kibwatukira wiiki ewedde.
President alagidde ssenkulu wa police addemu akwate abantu abo,baddemu baggalibwe batwalibwe ne mu kkooti bavunaanibwe.
Mu ngeri yeemu, President alabudde abakulu mu police abanaalemererwa okukwata n’okuvunaana baayise ababbi abo nti nabo kaggya kubaajjuutuka nabo baggya kuvunaanibwa
Ennaku eziyise, President Museveni abadde mu bitundu bye Lango ng’alambula Projects ezikoleddwa mu nsimbi za Parish Development Model, wabula ategeezezza nti alipoota eyakolebwa Omugenzi Brig General Charles Oluka yagirabye avudde mu Lango
Kinnajjukirwa nti ng’ennaku z’omwezi 31 December,2024, president Museveni bweyali ayogerako eri eggwanga yategeeza nti yali yalabula Police ku ky’okuyimbula ku kakalu kaayo abateeberezebwa okuzza emisango.