President wa Uganda Gen. Yoweri Kaguta Museveni afulumizza olukalala lw’abagambibwa okubeera abayeekera abaakattibwa egye lya UPDF bukya lisindikibwa mu Congo okuffeffeta abayeekera bano, abasinzira mu Congo okutigomya Uganda.
Egye lya UPDF lyasindikibwa mu ggwanga lya Congo gyebuvuddeko okulwanyisa abayeekera abagambibwa nti ba ADF abekweka mu ggwanga eryo, okukola obulabe ku bannansi ba Congo ne Uganda.
President Museveni agambye nti okuva nga 16 September,2023 baakozesa ennyonyi zomubbanga n’obukodyo obulala bakatta abagambibwa okubeera abayekera mu Congo abawera 200, wabula ku lukalala Museveni lwafulumizza kutereddwako amannya gabayeekera 57.
1. Kabuye Bashir ye yali omuduumizi.
2. Mutagubya Ismail yali amyuka muduumizi w’abayeekera
3. Julius
4. Kaze Huziaru
5. Nusifa Maga
6. Fisal Seguya
7. Yusufu Abdullah
8. Kwenzi Mando
9. Mbonera Akuli
10. Nampera Kasifa
11. Kuza Mzee
12. Kintu Kalinda Aboora
13. Ssenteza Muzamiru
14. Mutasa Adam
15. Bashir Karanda
16. Kasenge Nulu
17. Capt Madebeya
18. Rwanziiza Everisto
19. Kalenzi
20. Rwante Nyinemungu
21. Kule Ashra
22. Kiryerya Mutabliki
23. Kambale Davito
24. Kahindo Shatic
25. Mumbere Shantiri
26. Mundoki Shakira
27. Kambare Ahmed
28. Yerya Muzafuru
29. Warid Najib
30. Muslim Aimslim
31. Alid Katembo
32. Sula Mkeba
33. Milekanio
34. Kasereka Hamidu
35. Ngobi Hassan
36. Kenja Mustapher
37. Bonde Mwana Mwana
38. Baluku Mustapher
39. Kisembo Kuraisi
40. Baruku Buruhani
41. Kaseru Muntusoro
42. Mwana Mworo Sharifu
43. Mumbere Yasin
44. Ngasa Falooq
45. Mbotera Musa
46. Kiiza Ibrahim
47. Bavensikura
48. Okello Okello
49. Atim Mustapher
50. Njagaliiza Kasiimu
51. Kalibala Babo Mudde
52. Kezaala Ashirafu
53. Najja Swaibu
54. Gumire Harunah
55. Kibedi
56. Munyoori Abubaker
57. Alhajji Mujib.
Wabula president Museven agamba nti tebakakasa oba nga gano gemannya amatuufu agabayeekera bano, wadde nga gegamanyiddwa mu buyeekera.
Akabinja ka ADF kazze kakola obulumbaganyi ku bannauganda mu bitundu ebyenjawulo era abawerako bazze balugulamu obulamu sso nga abalala bajudde ebisago.
Mu ngeri yrrmu, Omu ku baduumizi b’abayeekera ba ADF amanyiddwa nga Kamusi akwaatiddwa oluvannyuma lw’okufuna ebiwundu mu kulwaanagana okubadde wakati wa UPDF n’abayeekera ,era gyebiggweeredde nga babiri ku bayeekera battiddwa.
Okulwaana kuno kubadde mu kibira kye Kibaale.
Kigambibwa nti nga 5.december,2023 omukwate Kamusi n’abakuumi be balumbagana Omukadde Biira Betty ku kyaalo Kanyatete ekisangibwa mu district ye Kasese nebamutta, nebaleka nga batemyeetemye omuvubuka Masereka Harrison eyali amulabirira.
Abayeekera ababiri abattiddwa nga bano babadde bakuuma ba Kamusi basangiddwa n’emmundu bbiri wamu n’Amasasi 37,
Col Deo Akiiki nga yamyuuka Omwoogezi w’egye lya UPDF ategeezezza nti okukwatibwa kwa Kamusi kwakuyambako egye okuzuula ebyama ebirala Abayeekera ba ADF webeekukumye.#