
Poliisi efulumuzza kopi zoobutabo emitwalo 5, oluvanyuma lw’omukulembeze weggwanga Yoweri Kaguta Museveni okukangula ku ddoboozi nga yeemulugunya olwenkola yeemirimu enkyaamu.
Obutabo buno bwakuweebwa abaserikale kinoomu, nga buteereddwaamu enkola ezinaagobererwa okumalawo obwegugungo mu bitundu byeggwanga ebitali bimu, omutaliimu kukuba bantu masasi.
Eggye ekkuuma byaalo erya LDU nalyo lyakuweebwa obutabo enkumi 5000, likuguke mu nkozesa yemmundu, omukka ogubalagala, kibooko nebirala ebikozesebwa mu kumalawo obujagalalo.
Ayogerera poliisi mu ggwanga Fred Enanga asinzidde ku Media center mu Kampala nategeeza nti omuserikale anaamenya amateeka nga alina akatabo kano wakuvunaanibwa.
Mungeri yeemu poliisi erabudde abakozesa emitimbagano okuvvoola nookusosola abawala abafunidde embuto mu muggalo ogwaleetebwa ekirwadde ki COVID 19, okukikomya.