Enteekateeka eno etandika okuva nga 01 July,2024.
Ebintu kampuni byezibadde ziwa abakozi tebibaddeko musolo, wabula governemnt egamba nti enkola eyo abakozesa babadde bagyerimbikamu okwepena omusolo nebafiiriza government.
Nathan Nandala Mafabi omubaka wa Budadiri West ne Dickson Katesumbwa omubaka wa Sheema municipality bagambye nti abakozesa bwebaba bagala okugabira abakozi babwe ebintu nga tebaagala kugibwako musolo gwa VAT, babitunde abakozi baweebwemu ensimbi enkalu.
Wabula ababaka booludda oluvuganya government Aisha Kabanda omubaka omukyala owa district Butambala ne Ibrahim Ssemujju Nganda omubaka wa Kira Ibrahim bawakanyiza omusolo guno nga bagamba nti okuteeka omusolo ku bintu kampuni nabakozesa byebagabira abakozi babwe ssi kyabuntu.
Mu ngeri yeemu parliamenet egobye ennoongosereza eyayanjulwa ministry y’ebyensimbi n’okuteekerateekera egggwanga, mwebadde eyagalira ba Agents b’ekitongole ki URA abalemererwa okuggya omusolo gwa Withholding TaX ku bantu, nti bakubwe engassi era nti kibakakatako okusasula eri ekitongole ki URA engassi eyo, n’omusolo gwebalemererwa okuggya ku bantu abaguze ebyamaguzi.
Parliament egambye nti ennongosereza eyo teyetaagisa, kubanga abawi bomusolo ogwo ,balina okukozesa enkola ya EFRIS, ey’abasuubuzi okugaba receipt ng’eyise mu byuma bi kalimagezi.
Kampuni ezikola emmotoka ezitambulira ku masannyalaze nga zikozesa ebintu ebikolebwa mu Uganda ebiweza ebitundu 80%, ng’ekozesa bannauganda ebitundu 80 nazo zigyiddwako omusolo gwa Stamp duty.