Ekitongole ekivunanyizibwa ku bisolo byomunsiko ki Uganda wildlife Authority kitaddewo obukwakkulizo eri ebidduka ebigenda okukozesa oluguudo oluyita mu kkuumiro ly’ebisolo erya Murchison Falls National Park, okwolekera ebitundu byokukiika kkono bwa Uganda.
Ekitongole ki UNRA kyayimiriza emmotoka ennene okuli bus, lukululana, Loole, nendala ezettika ebizito, okukozesa olutindo lwe Karuma okutandiika olwa leero nga 06 May,2024, oluvannyuma lw’okukizuula nga lwabadde lutandise okujamu enyaafa lwetaaga kuddaabirizibwa.
Emmotoka ennene ezooolekera ebitundu bye Gulu ne West Nile zaalagiddwa okukozesa enguudo endala okuli oluyita e Kafu- Masindi Paraa, luno nga lweruyita mu kuumiro ly’ebisolo erya Murchson falls songa ezo ezoolekera e Lira zalagiddwa okulozesa oluguudo lwa Nakalama –Tirinyi –Pallisa –Kumi –Soroti okutuuka e Lira
Emmotoka ennene okuli Loole, Trailer ne bus ezaagaaniddwa okukozesa olutindo lwa Karuma, zezokka ezitagenda kusasula bisale okuyita mu kkuumiro ly’ebisolo, zzo emmotoka endala entono ezakkiriziddwa okukozesa omolutindo lwa Karuma wabula nezisalawo okukozesa oluguudo oluyita mu kkuumiro ly’ebisolo zakusasulira oluguudo olwo kubanga zigenda kubalibwa ng’ezaabalambuzi.
Emmotoka ezigenda okukozesa oluguudo oluyita mu kuumiro lino, ziragiddwa okutambula wakati wa saawa 1 ey’okumakya ne saawa 1 eyakawungeezi obutasukkawo.
Abasaabaze balagiddwa obutamansa kasasiro, okuwa ebisolo byomunsiko eryo ebyokulya kuwereddwa , okuyimirirayimirira mu kkuumiro eryo nakwo kuwereddwa, sipiidi terina kusuka 40, songa n’okukuba engombe mu kkuumiro lino kuwereddwa.
Bashir Hangi ayogerera ekitongole ky’ebisolo by’omunsiko alabudde abagoba b’ebidduka abamenya obukwakulizo obwo nti amateeka gakubakolako.
Olutindo lwa Karuma lwakuggalwa okumala emyezi 3 eri emmotoka ennene, ng’ekitongole kya UNRA bwekikola ku nteekateeka z’okuluddaabiriza.#