Police e Bugiri ewalilriziddwa okukuba omukka ogubalagala n’amasasi mu bbanga okugumbulula abatuuze bomu kibuga ky’e Bugiri ababadde bekalakaasa olw’enguudo embi.
Akanyoolagano kabadde ka maanyi nga police yezooba n’abatuuze ababadde bakulembeddwamu Mayor Ayub Kisubi ne sentebe wa NRM mu Municipality Kagere Saidi.
Bagamba nti kikyaamu obutabakolera makubo agawomoggose atenga goverment yaweereza akawumbi k’ensimbi kalamba.
RDC e Bugiri Kalikwani Paul asoose kubawooyawoya nga buteerere, ekiddiridde police neyiibwa netandika okubakubamu omukka ogubalagala.
Agambye nti wadde ensonga yabwe wadde ntuufu nti naye bagikutte bubi nga tebasoose kufuna lukusa kuva ku police okwekalakaasa.
Omuduumizi wa police e Bugiri SP Godwin Achela agamba nti tewali ali waggulu wa mateeka, nto era bandisoose kutegeeza ku wofiisiye nga tebanaggala nguudo n’okwokya ebipiira n’okwekalakaasa.
Bisakiddwa: Kirabira Fred