Police eyise taata w’omugenzi Jacob Oulanyah eyali sipiika wa parliament, n’abantu abalala bataano babeeko byebannyonyola, ebikwata ku nfa ya mutabani we era eyali sipiika wa parliament.
Abayitiddwa ye muzeeyi Nathan Lokori taata w’omugenzi,akulira ekibiina kyébyobufuzi ki National Unity Platform NUP Robert Kyagulanyi, Ssentamu Bobi Wine ne Minister wébyamawulire nÓkulungamya eggwanga Dr Chris Baryomunsi.
Abalala abayitiddwa ye mubaka wa Kilak County mu Amuru Gilbert Oulanyah , omumyuka wa ssentebe wa NRM mu Buganda Godfrey Kiwanda Ssuubi ne Santa Okot.
Kigambibwa nti bano omukaago baliko ebigambo byebaayogera ebyalaga nti Jacob Oulanyah yafa butwa, wadde nga alipoota yábasawo eyafulumizibwa government yagisoma mu lwatu nti omugenzi yali yafa Kkookolo.
Jacob Oulanyah yafiira mu ddwaliro lya University of Washington medical centre
Minister w’ebyobulamu Dr.Ruth Aceng yeyasoma alipoota eno mu parliament, era nategeeza nti Jacob Oulanyah yafa kkookolo ayitibwa Lymphoma.
President Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa wiiki ewedde yabadde ku mukolo gw’okukungubagira omugenzi ku mukolo ogwabadde e Kololo, n’alagira police ekwate abantu bonna aboogera ebigambo ebitakwatagana na alipoota y’abasawo.
Nga waakayita olunaku lumu lwokka nga president yaakamala okuyisa ekiragiro kino, mu kuziika omugenzi ku lunaku olwokutaano mu district ye Omoro, taata wÓmugenzi muzeeyi Nathan Lokori yayongera okukakasa abakungubazi nti mutabaniwe yali yamutegezaako nti baamuwa Obutwa , newankubadde yamubuulira kikeerezi nga tewakyali kiyinza kukolebwa.
Omwogezi wa police mu ggwanga Fred Enanga agambye bano balina okubaako byebannyonnyola mu bwangu ddala, era nga akadde konna babalinze ku police bagende bennyonyoleko.