Police ekutte era neggalira abayizi 11 nga bavunaanibwa okwetaba mu kwekalakaasa okubadde ku Kyambogo University.
Abayizi albatanudde okwekalakaasa nga bawakanya eky’abakuliira University eno okuyimiriza okulonda kw`okuliko lw’aabayizi, ate University neronda olukiiko olw’ekiseera abayizi kyebawakanya.
Reuben Twinomujuni omwogezi wa Kyambogo University ategezezza Cbs nti abayizi 11 bebakwatiddwa Police mu Kwekalakasa kuno, wabula nawakanya ensonga abayizi zebabadde banokolayo nti zezibaletedde okwekalakasa.
Reuben Twinomujuni agambye nti University kyeyakoze kwe kulonda Dean of Students okugira ng’akola ng`omukulembeze wabayizi ow’ekiseera, kino bakikoleddwa mu mateeka agalungamya University.
Agamba nti obuzibu bwabadde kw’akuliira akakiiko k’abayizi akeby`okulonda mu University eyakoze emivuyo, ng’okulonda kwabadde kunatera okutuuka, bweyalabye ng`ennaku ziweddeko neyekweka era tamanyiddwako mayitiire.
Twinomujuni agambye nti bataddewo olukiiko olw’ekiseera okunoonyereza ku mivuyo egibadde mu bukukembeze bw’abayizi.
Bisakiddwa: Musisi John