Omwoleso gwa CBS Pewosa gutandise mu butongole mu Lubiri lwa Beene e Mengo, era buli kimu kiteekeddwateekeddwa bulungi.
Enteekateeka zikoleddwa bulungi omuli n’okusaawo ebifo ebyenjawulo abantu webanaabira engalo okwerinda ekirwadde kya Ebola.
Okuyingira mwoleso gwa CBS Pewosa kwa shs 5000/= buli muntu.
Omwoleso gutereddwamu ebyokuyiga ne by’obulamu ebiweerako abantu ba Nyinimu basobole okufunamu.
Omwoleso guwagiddwa Ssimba Automotives, Uganda cancer institute, Honda, Insurance Regulatory Authority, Mulinza farm, CBS PEWOSA SACCOS zonna, nÓbwakabaka bwa Buganda, era nabo bonna boolesezza.#













