Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye bannakisinde kya Patriotic League of Uganda okuggya engombo ya Mwoyo gwa ggwanga mu bigambo bagizze mu bikolwa , nga balwanyisa obuli bw’enguzi n’obutali bwenkanya obusukkiridde mu ggwanga.
Abadde mu Bulange e Mnego, ng’asisinkanye banna PLU abaguze emijoozi gy’emisinde gy’amazaalibwa g’Empalabwa, gya Bukadde bwa shs 20,000,000.
Katikkiro agambye nti Banna Uganda bangi bali mu kusoberwa olw’obulyake obususse mu bitongole n’abakozi mu government ekizingamizza enkulaakulana y’Eggwanga.
Katikkiro asabye buli awulira nga alumirirwa eggwanga alowooze ku mpeereza etali nnungi efumbekedde mu malwaliro, n’Okukulemberamu kawefube w’okulwanyisa siriimu mu ggwanga.
Godfrey Kabyanga minister omubeezi owa tekinologiya n’Okulambika eggwanga nga yakulembeddemu Banna PLU, yebazizza Obwakabaka bwa Buganda olwokuggulangawo enzigi eri bannabyabufuzi n’Abantu bonna.
Mu ngeri yeemu amasomero ga Janaan schools nga gakulembeddwaamu omutandisi waago Omuk. Michael Kironde nago gakiise Embuga n’Obukadde 2 ,okuwagira enteekateeka z’Emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka , era yeeyamye okusigala nga bawagira buli nteekateeka y’Obwakabaka.
Bisakiddwa: Kato Denis