Akakiiko ka Parliament ak’ebyamateeka kaagala akakiiko k’ebyokulonda kongezeeyo ennaku ezaalambikibwa ez’okuddizaamu obuggya enkalala z’abalonzi kko n’okwewandiisa, kisobozese bannauganda bonna obutalekebwa mabega mu nteekateeka eno.
Ababaka mu parliament abatuula ku kakiiko kano babadde mu nsisinkano ettakiriziddwamu bannamawulire, nebakubaganya ebirowoozo ku Alipoota gyebateekateeka okwanjulira Parliament.
Omumyuka wa sipiika wa Parliament Thomas Tayebwa Bangirana, yeyabatuma alipoota eno wiiki ewedde, oluvannyuma lwa Parliament okwemulugunya ku budde obutono obwassibwawo akakiiko k’e byokulonda kko ne vvulugu eyeetobese mu nteekateeka y’okuzza obugya enkalala za balonzi.
Oluvannyuma lw’ensisinkano eno, Ssentebe w’akakiiko kano Stephen Bakka ategezezza bannamawulire ng’okwemulugunya bwekususse okuva mu nsonda ezenjawulo ku nteekateeka eno, nebalaba nga kyetaagisa okwongezaayo obudde.#