Omumyuka owookubiri owa Katikkiro wa Buganda Owek Robert Waggwa Nsibirwa asabye abantu ba Ssabasajja okukozesa emyoleso okufuna amagezi ku bantu abalala, n’Okugaziya obutale bwebyamaguzi okweggya mu bwavu.
Owek.Waggwa abadde aggulawo omwoleso gwa CBS Pewosa mu Lubiri lwa Beene e Mengo.
Owek Nsibirwa agambye nti omwoleso gwa CBS pewosa gulimu abantu abakola business eza buli kika, buli muntu gyasobola omuyigirako okubaako eddaala eddala lyatuukako mu kwekulakulanya.
Awadde eky’okulabirako eky’okulima ebintu omuva ensimbi, omuli omuddo gw’ensolo oguleeta amata agawera.
David Balaaka nga ye ssentebe w’Olukiiko olufuzi olwa CBS Nsindikanjake, yebazizza Radio ya Ssabasajja CBS okwagazisa abantu okwenyigira mu mirimu gyenkulaakulana, nebasalawo okwanganga ebisomooza.
Ssenkulu wa Radio CBS Omuk Micheal Kawooya Mwebe agambye nti okwolesebwa kwa CBS Pewosa kwakuggya abantu mu mbeera ey’Okusabiriza, bekolere ensimbi zabwe bekulakulanye.
Saul Katumba nga ye Ssenkulu wa CBS Pewosa Nsindikanjake agambye ekyaatandisaawo radio CBS kweekusitula embeera z’abantu ezebyenfuna, nti era omulamwa guno gutambula bulungi.
Okuyingira omwooleso gwa CBS Pewosa kwa shilling 2000 eri abaana abato, songa abantu abakulu basasula 5000 ,era nga wakubaayo n’ebisanyusa.
Omwoleso gwa CBS Pewosa gutandise leero gukomekkereza ku monday nga 18 April,2022.